KIKANGABWA kigudde  e Katabi e Ntebe, abaana basatu bwe basirikidde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula.

KIKANGABWA kugudde  e Katabi e Ntebe, abaana basatu bwe basirikidde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula.

KIKANGABWA kigudde  e Katabi e Ntebe, abaana basatu bwe basirikidde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula.
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

KIKANGABWA kigudde  e Katabi e Ntebe, abaana basatu bwe basirikidde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula.

Enjega eno ebadde Mpala Cell mu Katabi town Council mu disitulikiti y'e Wakiso, abaana basatu abawala, okuli Ellah Namirimu 12, Amani Namuleme 5 ne Tamale Namuju 3 bwe bafiiridde mu muliro ku ssaawa nga Musanvu ogw'ekiro.

Kitegeezeddwa nti kitaabwe Lenon Kavuma abadde Jinja ku mirimu gye, ate nyaabwe Juliet Nalubwama nga naye abaleseemu bokka mu nnyumba.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala , Luke Oweyesigyire, ategeezezza nti emirambo gy'abaana ababiri , gisangiddwa wabweru w'ennyumba ate ye owokusatu , omulambo gwe gusangiddwa munda naye ng'ayidde nnyo.

Ayongeddeko nti abazinyamooto we batuukidde, ng'abaana bamaze okufa nga n'ennyumba eyidde nnyo.