POLIISI e Luweero eri mu kuyigga omusajja agambibwa okulumba eyali muganzi we, n'amufumita ebiso mu kifuba ebimusse .
Ettemu libadde mu zooni ya Wampamba mu kabuga k'e Wobulenzi mu disitulikiti y'e Luweero, omusajja atannamanyika mannya, bw'afumise eyali muganzi omuwala ow'emyaka 20 ebiso n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro.
Omuwala ono abadde omusuubuzi, mu kitundu ekyo, kigambibwa nti bamufumise ku ssaawa nga Ttaano ez'ekiro ekikeesezza leero, nti kyokka agezezzaako okukuba enduulu, omusajja n'adduka.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Tweanamazima, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Luweero okwekebejjebwa nga bwe bayigga omutemu.