Abantu bana abagambibwa okubaako kye babamanyi ku kuttibwa kwa Clearing Agent, bakwatiddwa.
Kidiridde abantu abatannamanyika okutta Eric Buchunju 40 ng'abadde akolera Busia nga Clearing Agent, omulambo gwe ne bagusuula e Namataba Lugazi.
Kigambibwa nti emmotoka ye Ekika kya Mark X nnamba UBK 204X ne bagireka ku Lake Petrol station e Namataba.
Poliisi ekutte Shadia Namuyanja, Grace Namatovu, Abdu Sentamu ne Gerald Mbuga bayambeko mu kunoonyereza ku ttemu eryo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Patrick Onyango, agambye nti era basobodde okuzuula kattawulo akagambibwa okweyambisibwa okusiimuula omusaayi, n'amayinja ababiri nga galiko omusaayi.