OMUVUZI wa bodaboda atannamanyika bimukwatako, ayingiridde lukululana n'emulinnya n'emutta, bw'abadde agezaako okusala ekinnya.
Akabenje kabadde mu kifo ekiyitibwa Ewawu, ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga, omuvuzi wa bodaboda ng'atambulira ku pikipiki Bajaaj nnamba UGG 325C bw'atomeddwa lukululana nnamba KBQ 813 F / ZC 0749 ng'evugibwa Yakubu Kamu .
Kigambibwa nti omuvuzi wa bodaboda ,abadde ayolekera oludda lumu ne tuleera nga badda Iganga ng'avugira ku kakubo k'abebigere nti kyokka mu kusala ekinnya, ayingidde oluguudo n'agwa mu mipiira gya lukululana n'emulinnya n'afiirawo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo, ategeezezza nti ebidduka byombi, bitwaliddwa ku poliisi e Iganga okubyekebejja ,ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.