Omusuubuzi akubiddwa amasasi agamuttiddewo e Nangabo

OMUSUUBUZI akubiddwa amasasi agamusse ate omukozi we n'aweebwa ekitanda nga naye bamukubye mu bunyazi obubaddewo.

Omusuubuzi akubiddwa amasasi agamuttiddewo e Nangabo
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

OMUSUUBUZI akubiddwa amasasi agamusse ate omukozi we n'aweebwa ekitanda nga naye bamukubye mu bunyazi obubaddewo.

Bibadde ku luguudo oluva e Nangambo okudda e Kitagobwa mu Kasangati Town Council, abazigu Mukaaga ababadde n'ebiso n'emmundu , bwe bakubye omusuubuzi Deo Bwanika 51 amasasi agamusse ne bakuuliita n'omuwendo gw'ensimbi egutannamanyika.

Kigambibwa nti obulumbaganyi , bubaddewo ku ssaawa nga nnya mu kiro ekikeesezza leero, abazigu ababadde bambadde obukookoolo nga batambulira ku pikipiki bbiri , bwe balumbye Bwanika ne bamulagira okubawa ssente.

Kitegeezeddwa nti Bwanika agezezzaako okubalwanyisa kwe kumukuba amasasi agamuttiddewo ate omu ku bakozi be, Julius abadde agezaako okutaasa, naye ne bamukuba okugulu n'atwalibwa mu ddwaaliro.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti omuyiggo gw'abatemu bano, gugenda mu maaso.