Paasita Kayanja asiimye Pulezidenti Museveni okubawa eddembe ly'okusinza

NG’ABALOKOLE beebugira okwaniriza Omusumba asinga obututumufu mu nsi, Pr. Benny Hinn, Paasita Robert Kayanja yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okubawa eddembe ly’okusinza mu ggwanga.

Paasita Kayanja asiimye Pulezidenti Museveni okubawa eddembe ly'okusinza
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#Paasita Kayanja #Benny Hinn #Balokole #Basumba

NG’ABALOKOLE beebugira okwaniriza Omusumba asinga obututumufu mu nsi, Pr. Benny Hinn, Paasita Robert Kayanja yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okubawa eddembe ly’okusinza mu ggwanga.

Abamu ku bakkiriza abagenda okubaayo mu lukung'aana.

Abamu ku bakkiriza abagenda okubaayo mu lukung'aana.

Bino yabyogeredde ku kkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga mu lukungaana lw’abannamawulire nga yeetegekera okukyaza Benny Hinn, era eno gye yasinzidde okusaba basumba banne okubeera obumu okusinga okwerumaaluma.

Yagambye nti Benny abadde musumba okumala emyaka 50 ng’alina obumanyirivu ng’alina bingi by’asobola okubawaamu amagezi n’ayita Abasumba banne okujja okwetaba mu lukungaana luno okwongera okuyiga kyokka n’abasaba okwewala entalo ssinga baakuzimba ekkanisa ya Katonda etayuugayuuga.

Kayanja yategeezezza nti bw’otunuulira ekkanisa gy’evudde nga basabira mu biwempe okutuusa kati nga bazimbye amasinzizo, tolemwa kwebaza Gavumenti kubawa mwagaanya ssaako okutebenkeza eggwanga n’emirembe era nti ssinga si kino, n’omusumba Benny Hinn teyaalizze nga kati guba mulundi gwakusatu okukyalira Uganda.

Pr. Kayanja ng'alina by'alaga Dr. Marie Dona wamu n'abeebyokwerinda nga beetegekera Benny Hinn.

Pr. Kayanja ng'alina by'alaga Dr. Marie Dona wamu n'abeebyokwerinda nga beetegekera Benny Hinn.

Omusumba Benny Hinn waakujja mu lukungaana lw’enzikiriza y’Abalokole ku Miracle Centre Cathedral w’asuubira okusumba abakkiriza abasoba mu mitwalo 10 okumala ennaku ssatu okuva nga June 27-29, 2025 ng’olunaku olusembayo waakusisinkana abakulembeze ab’enjawulo okuwayaamu nabo.

Yasabye abantu bonna okujja mu lukungaana lw’okuwonyezebwa kyokka n’abasaba okukwata obudde ssaako okwewala okujja n’ebintu eby’obulabe wamu n’obutakwatana na migugu egiyinza okubulirayo.

Pr. Kayanja yategeezza nti eby’okwerinda binywevu, ne yeebaza obwakaba wa Buganda olw’okubawa olubiri olugenda okukozesebwa nga ppaakingi y’ebidduka by’abakkiriza.

Omusumba Benny Hinn yazaalibwa mu 1952 mu ggwanga lya Israel mu bazadde aba Palestine abaalina akalandira ka Buyonaani, kati awangaalira Canada.

Yakuzibwa mu nzikiriza ya Orthodox ate n’abatizibwa mu Jerusalem. Amanyiddwa nnyo olw’okukuba enkungaana z’ebyamagero by’okuwonyezebwa mu nsi yonna era muwandiisi wa bitabo.