Amawulire

Katikkiro Mayiga etemye evvuunike ku ddwaliro  ly'Obwakabaka erigenda okuzimbibwa e Mityana

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atemye evvunike ly'eddwaliro ly'Obwakabaka erigenda okuzimbibwa ku mbuga y'eggombolola Mumyuka Busimbi mu munisipaali ye Mityana mu ssaza ly'e Ssingo.Eddwaliro lino ligenda kuzimbibwa mu bbanga lya mwaka gumu era nga lya mutendera gwa ddaala lya kuna.    

Katikkiro atema evvuunike mu kuzimba eddwalieo ly'Obwakabaka e Mityana
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atemye evvunike ly'eddwaliro ly'Obwakabaka erigenda okuzimbibwa ku mbuga y'eggombolola Mumyuka Busimbi mu munisipaali ye Mityana mu ssaza ly'e Ssingo.

Eddwaliro lino ligenda kuzimbibwa mu bbanga lya mwaka gumu era nga lya mutendera gwa ddaala lya kuna.

Joyce Baagala Omubaka omukyala owa Disitulikiti ye MNityana ng'ayogera

Joyce Baagala Omubaka omukyala owa Disitulikiti ye MNityana ng'ayogera

Liri limu kwaago asatu agagenda okuzimbibwa mu bbanga eryo ng'amalala ly'e Mukungwe-Masaka mu Buddu ate neerye Nyenga-Buikwe mu Kyaggwe.

Mayiga asinzidde wano n'ategeeza by'ebyobulamu bya Uganda bwebyaddobonkana edda nga birina okukwatibwako n'amaanyi mangi okubivunuka.

Ku nkayana z'ettaka, Mayiga ategezezza nti ettaka lya Kabaka si lya kwesooka bwatyo n'avumirira abo abaali baleese enkayana n'emivuyo ku ttaka awatereddwa eddwaliro lino kubanga tebasobola kulemesa nteekateeka z'Obwakabaka.

"Yenna ayagala ettaka ly'Obwakabaka Alina kugenda mu Buganda Land Board aweebwe liizi ng'aba divizoni  ye Busimbi bwebaakoze (nebaweebwa liizi ya myaka 99).

Katikkiro ng'abuuza ku Musumba Bukomeko

Katikkiro ng'abuuza ku Musumba Bukomeko

Minisita w'Amawulire Noah Kiyimba yyayogedde ku lwa Minisita w'ebyobulamu mu Buganda Dr. Prosperous Nankindu Kavuma atabaddewo neyebaza Bannassingo okwongera okubeera abawulize mu mirimu gy'Obwakabaka gyonna egireteebwa.

Omwami w'essaza ly'e Ssingo,David Nantajja Mukwenda agambye nti okutemebwa kw'evvunike lino bwekali akabonero akukulu mu kutumbula eby'obulamu bwa Bannassingo era neyebaza Obwakabaka olw'okusooka okulowooza ku ssaza lino. 

Omubaka omukyala owe Mityana mu Palamenti,Joyce Baagala yeyamye ku lwa Bannabyabufuzi nti baakuwagira omulimu guno kyokka n'asaba Katikkiro abagambire ku babaka ba Pulezidenti abatumibwa mu bitundu okuwanga ekitiibwa abakulembeze be basangayo,bakwatagane nabo okusinga okubeeranga mu kusika omuguwa!

Kakikkiro Mayiga ng'abuuza ku bakulembeze be Mityana

Kakikkiro Mayiga ng'abuuza ku bakulembeze be Mityana

Richard Kawooya, Akulira eby'obulamu mu disitulikiti ye Mityana yebazizza Obwakabaka olw'okuzimba eddwaliro lino nga liwezezza omuwendo gw'amalwaliro ag'eddaala ery'okuna gw'amalwaliro ataano ng'asatu ga gavumenti,erimu lya kereziya Kati nerino ery'Obwakabaka.

Eddwaliro erigenda okuzimbibwa

Eddwaliro erigenda okuzimbibwa

Mukambwe Lukonge Meeya wa munisipaali ye Mityana, Ssentebe wa Divizoni ye Busimbi,David Malagala ne David Ssendikaddiwa nga ye Mwami wa Kabaka atwala eggombolola y'e Busimbi bonna baaweze okuwagira Pulojekiti eno.

Katikkiro ng'asimba omuti

Katikkiro ng'asimba omuti


Omukolo gwetabiddwako Ababaka ba Palamenti, Francis Zaake Butebi(owa munisipaali ye Mityana), Richard Lumu,David Kalwanga (Busujju) n'abakulembeze abalala bangi ab'Obwakabaka
Tags: