Abaasangibwa n’ebyuma bya zzaala mu bukyamu e Masaka basindikiddwa Luzira

ABAGAMBIBWA okusangibwa  n’ebyuma by’Abachina ebya zzaala e Masaka nga babiddukanya mu bumenyi bw’amateeka basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.

Ssali (ku kkono) ne Mwesigwa nga batuusibwa ku kkooti e Makindye.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAGAMBIBWA okusangibwa  n’ebyuma by’Abachina ebya zzaala e Masaka nga babiddukanya mu bumenyi bw’amateeka basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa.
Godfrey Ssali,43, omutuuze w’e Kalungu ne Patricia Mwesigwa, 24, akola mu bbaala, ow’e Namirembe ku mwalo e Masaka, be baavunaaniddwa mu kkooti ekola ku nsonga z’ebisolo, amazzi n’obutonde bw’ensi e Makindye, mulamuzi Molly Adong
n’abasindika ku limanda e Luzira. Kigambibwa nti, nga September 2, 2025 mu Nyendo Masaka, Ssali yasangibwa n’ebyuma bya zzaala 2 bye bazannya nga bakozesa ennusu. Bino byali bisimbiddwa mu lujjudde lw’abantu kyokka nga talina lukusa lubiddukanya okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa  ku zzaala.
Ekikwekweto kyeyongerayo ku mwalo gw’e Namirembe ku bbaala ya Kalenga omuwala Patricia Mwesigwa n’akwatibwa n’ebyuma bya zzaala bibiri (2). Kigambibwa nti, oluvannyuma lw’omuwala ono okukwatibwa, yalonkoma omusajja Richard Mukwaya nnannyini byo kyokka ng’ono yaakava mu kkomera e Luzira ku misango gye gimu
 egy’okuddukanya ebyuma byazzaala nga talina lukusa nga kati anoonyezebwa.
Ssali okukwatibwa kigambibwa nti, ng’ekikwekweto kigenda mu maaso, yafuna abamubagulizaako ebyuma n’abiggya mu dduuka lyen n’abiteeka mu mmotoka ekika kya Probox n’abulawo nabyo mu nkola y’okubuzaawo obujulizi. Ono baamulinnya akagere era oluvannyuma n’akwatibwa nabyo mu mmotoka nga yeekukumye mu kifo ekimu mu Nyendo.  Ku kkooti e Makindye, ababiri bano baaleeteddwa abavunaanyizibwa ku kutebenkeza eby’okuzannya zzaala mu Uganda aba ‘The Lotteries and Gaming Regulatory Board’ nga bawerekeddwaako abaserikale ba poliisi oluvannyuma ne basimbibwa mu kaguli ne basomerwa emisango. Bano baavunaaniddwa mu tteeka lya zzaala C/S67 (1) (c) akawaayiro 334. Singa gubasinga basobola okusibwa emyaka ebiri oba okuwa engassi ya mitwalo 96 oba okukola ebibonerezo byombi. Olw’okuba omuwaabi wa Gavumenti teyabaddewo, baasindikiddwa ku limanda okutuusa nga September 10, 2025 lwe banazzibwa mu kkooti okwongera okuwerennemba n’emisango gino