Katikkiro Mayiga awabudde abali ku mulimu gw'okuteekerateekera eggwanga

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abali ku mulimu gw'okuteekerateekera ebyenfuna by'eggwanga lino okukulembeza ebintu ebyo abantu byebalinamu enkizo. 

Katikkiro Mayiga awabudde abali ku mulimu gw'okuteekerateekera eggwanga
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abali ku mulimu gw'okuteekerateekera ebyenfuna by'eggwanga lino okukulembeza ebintu ebyo abantu byebalinamu enkizo. 

Mayiga agamba nti okutumbula obulimi n'obulunzi olw'engeri yonna kyanguwa okuyitimusa enkulakulana mu bantu kubanga bakola ekyo kyebasinga okumanya. 

Okwogera bino asinzidde Bulange Mmengo ku mukolo kwasisinkanidde Bannakibiina ky'Abalunzi b'enkoko mu Uganda ki Poultry Association of Uganda n'agamba nti buli omu bwabeerako kyakola mu makaage, Buganda ne Uganda byangu byakukulakulana.

Katikkiro Mayiga era asinzidde ku mukolo guno  n'asaba abalunzi bano okutambuliza bizinensi zaabwe zino mu Famire zaabwe gusobole okuwangaala n'awa eky'Okulabirako Kya Aga Ssekalala eyatandika Ugachick nga Kati eddukkanyizibwa Mutabani we Aga Ssekalala Jr. 

Ye Minisita w'ebyobulimi, obulunzi, obusuubuzi n'obwegassi mu Buganda, Hajj Amisi Kakomo ateegezeezza ng'Obwakabaka bwebutadde amaanyi mu bulunzi n'akunga buli Famire eddemu okubeeramu enkoko nga bwekyabeeranga edda. 

Abalunzi bano bakulembeddwamu Ssekalala Jr Eyaliko Pulezidenti waakyo. Ekibinja era kibaddemu Henry Mambwe nga ye Pulezidenti aliko. 

Peter Ssenkungu nga ye Ssabawandiisi w'ekibiina kino asabye Katikkiro Mayiga okugatta obulunzi bw'enkoko ku mmwaanyi ng'ebintu byatumbula kubanga zirina obusoboozi bw'okuyingiriza abantu ensimbi. 

Mu kusisinkana abalunzi bano, Mayiga abadde ne Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone mu Buganda, Robert Sserwanga ng'oluvanyuma abakwasizza Satifikeeti ya bukadde Mwenda zebaleese okuwagira emirimu gy'Obwakabaka.