Mu lukungaana lwa bannamawulire olubadde e Wakiso, Musinguzi agambye nti batandika naba ssentebe ba disituliki kwossa ba kkansala baabwe n'asaba abo bonna abesimbyewo okugoberera ebyabagambibwa.
Musinguzi era yalabudde abetegese okukuba kampeyini nga bakamala okusunsulwa nti tebetantala kuba akakiiko k'ebyokulonda kaatekawo ennaku kampeyini zonna kwezigenda okutandikira.
Ye Rdc wa Wakiso Justine Mbabazi yalabudde abayinza okutambula n'eggaali zaabwe nti anetantala agenda kukwasibwako omukono gw'ekyuma.