BADDEREEVA ku siteegi y’e Buloba mu ppaaka ya Kisenyi- Ggwanda bakubaganye ebikonde n’ensambaggere ng’entabwe eva ku kya kukomyaawo ssentebe waabwe gwe baayimiriza, Musa Nsubuga.
Kyaddiridde abakulembeze b’ekibiina ekigatta aba takisi ekya UTOF abaakulembeddwa Khalid Bbaale okukeera ku siteegi eggulo nga bali ne Nsubuga ne bategeeza nti bamukomezzaawo kuba baakoowa enkola y’okuwamba obukulembeze.
Nsubuga yali yayimirizibwa baddereeva ne bateekawo olukiiko lw’ekiseera nga bamulanga kubulankanya ssente za Emyoga, ssente za SACCO n’obutabawa kitiibwa.
Kino kyaggye baddereeva mu mbeera ne bakiwakanya nga bagamba baamugoba balina kusooka kuva mu lukiiko olw’okubeerawo ku Lwokutaano balabe kye bazzaako.
Ekibinja ky’abavubuka abamanyiddwa nga bakifeesi bazze ku siteegi ne batandika okukuba baddereeva obudde ne budda ku bunnaabwo.
Akulira ebikwekweto mu UTOF, Aloysius Ddamulira yavumiridde ebikolwa by’okukuba baddereeva kyokka n’agamba nti tebakkiririza mu nkola ya kuwamba siteegi.
Yagambye nti baayimirizza siteegi y’e Buloba okumala ekiseera ekitali kigere, okutuusa embeera lw’enadda mu nteeko.
Nsubuga yeegaanye ebimwogerwako n’agamba nti bulimba obugenderera okumuttattana erinnya. Ssente z’emyooga yagambye nti baazigabana abawera nga n’ekyokulonda abakulembeze takirinaako buzibu kasita bagoberera amateeka.