Ssenyoyi mwenyamivu olw'engeri Abodo gyakuttemu ensonga z'abasibe

AKULIRA oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi alaze obw’ennyamivu engeri Jane France Abodo nga kati ye mulamuzi omukulu gyakutemu ensonga z’abasibe abaalagibwa okukomya okugezesebwa mu kkooti y’amagye bwabadde ku ddaala lya ssaabawaabi wa gavumenti.

Abodo ne Ssennyonyi
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

AKULIRA oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi alaze obw’ennyamivu engeri Jane France Abodo nga kati ye mulamuzi omukulu gyakutemu ensonga z’abasibe abaalagibwa okukomya okugezesebwa mu kkooti y’amagye bwabadde ku ddaala lya ssaabawaabi wa gavumenti.

Leero akakiiko ka palamenti akasunsula ababeera balondeddwa pulezidenti aka Appointments Committee kasunsudde Abodo wamu n’abalamuzi abakulira Code Tribunal okubadde Roselyn Karugonjo Segawa (ssetebe),  Anthony Conrad Kaweesi Kakooza (amyuka ssentebe ),ne ba mmemba okuli  Jane Okelowange, Didas Bakunzi Mufasha, ne Annette Karungi.

Nga ayogerako eri bannamawulire nga omu kubatuula ku kakiiko kano, Ssenyonyi agambye nti Abodo muyivu bulungi era tasaana kubuusibwabusiibwa mu nsonga z’ebitabo wabula nga amwemulugunyako ku ngeri gyakutemu ensonga z’abasibe abalagibwa okukomya okuwozesebwa mu kkooti y’amagye.

Agambye ensonga eno ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka abadde ajitunnuliza Abodo kyokka nga kyanaku nga ne Abodo naye abadde agyesamba.

Sseyonyi era asabye omuwendo gw’abalamuzi okwongera okwongezebwako olwo omuwendo gw’emisango ejitudde mu zi kkooti ez’enjawulo gukendeere.