Pulezidenti we kibiina kya Rotary Club ya Semuto Daniel Muwanguzi asabye abantu bonna okufaayo okwekebeza obulwadde bwa kokolo nga bwazuulibwa nga bukyali babujjanjaba naawona. Muwanguzi yagambye nti buly’omu kimukakatako amanyi n'atamanyi bikwatta ku bulamu bwe okudduukira mu ddwaliro wekebeze obulwadde bwa Kookolo
Muwanguzi yabadde yabyogedde bwe yabadde akulembeddemu ba mmemba ba lotale eno abetabye mu musinde gye byalo mu kukunanya ssente ezigula ekyuma ky’okujjanjaba obulwadde bwa Kookolo
Omukolo gwa Rotary
Emisinde gino gyetabiddwamu abaana n’abantu abakulu abaguze emijoozi 200 gye bayambadde ne badduka ne betooloola akabuga ka semuto . Badduse mayiro ttaano nga basimbudde ku kijjukizo mu kabuga ka Semuto
Dr. William George Kisitu nga ye pulezidenti we kibiina agenda okuddako yasabye abazadde obutagayalirira abaana babwe naddala abalenzi wabula nabo babawereze mu ddwaliro basobole okukeberebwa obulwadde bwa Kokola
Era yasabye abazadde okuyingiza abaana baabwe mu lotale bakule nga bamanyi omugaso gw’okugibeeramu wabula baleme ku gyesamba nti ya bagagga , bakimanye nti okugibeeramu gubeera mutima mulungi okuyamba abalala abali mu bwetaavu .
Sarah Zabali omusawo eyawummula yagambye nti kokolo wabika bingi omuli akwatta obwongo , obulago , abasajja , ekibumba ne birala nga byonna bijjanjabwa singa otukkayo nga bukyali
Bannalotale nga bali mu kifaananyi ekya wamu
Bishagenda Zakaria omu ku bammemba yagambye nti y’omu ku bakawonawo abayita mu kusoommozebwa ku lw’obulwadde bwa KKansa wa basajja nga ekyamuyamba okubuvunuka kwe kuba nti yagenda mu ddwaliro nafuna obujjanjabi amangu ddala
Agamba nti alw’embeera gye yayitamu yagambye nti guno omulundi gwa kusatu nga awaayo ekifo kya Country garden e Semuto bannalotale we bakunganira ne bakola ebintu ebyenjawulo ebibayamba okwekulaakulanya .
Era mu kifo kino bammemba we bamalidde emisinde oluvannyuma ne bakoledde dduyiro ne banyuka nga bamaze okufuna ebinyogoga