Ab’e Wakiso balaajanye ku bbula ly’amasannyalaze

ABATUUZE b’e Wakiso mu ggombolola y’e Bussi n’e Kasanja balaajanide gavumenti ku masannyalaze agalemye okutuuka naddala mu bitundu eby’omu byalo mu disitulikitti eno.

Ab’e Wakiso balaajanye ku bbula ly’amasannyalaze
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATUUZE b’e Wakiso mu ggombolola y’e Bussi n’e Kasanja balaajanide gavumenti ku masannyalaze agalemye okutuuka naddala mu bitundu eby’omu byalo mu disitulikitti eno.
Baategeezeza nti kino kizing’amizza enkulaakulana n’enkola y’emirimu so ng’ate n’ebitundu ebimu ebirimu amasannyalaze basanze okusoomoozebwa okw’obubbi bwa mmita.
Eky’obubbi bwa mmita bakitadde  ku bakozi b’ekitongole kino bennyini nti be bawanikayo mmita zino  ate bwe bamala ne bazibbayo. Bino baabiroopedde Katikkiro
w’eggwanga, Robinah Nabbanja bwe yabadde akyaddeko mu disitulikiti e Wakiso. Yawerekeddwaako baminisita ab’enjawulo n’abakulu mu kibiina kya NRM mu kutalaaga kw’aliko ng’alambula ebitundu okukakasiza ddala oba ebisuubizo Pulezidenti Museveni bye yasuubiza okukolera abantu ku ntandikwa y’ekisanja kino byateekebwa mu nkola.
Ebirala bye baamuloopedde mwabaddemu; ekibba ttaka, enguudo embi, amalwaliro obutabaamu ddagala ssaako ne ssenteez’okwekulaakulanya ku miruka eza PDM okugabibwanga mu ngeri etali ya bwesimbu. Mu kubaanukula, Nabbanja yasoose
kubasiima nti wadde wakyaliwo ebisoomooza naye ebitundu 80 kwebyo Pulezidenti Museveni bye yasuubiza okukolera abantu bituukiriziddwa n’agattako nti mukakafu nti ekisanja kino we kinaggweerako bingi bijja kuba byongedde okuteekebwa mu nkola. Yalagidde ofi isi y’ebyettaka okusitukiramu okugenda bataawuluze entalo z’ettaka, okulaba ng’abantu tebagobebwa ku ttaka lyabwe. Yagambye nti baakunoonyereza ku kwemulugunya ku babba mmita z’amasannyalaze. Yabawadde essuubi nti oluguudo lwa Kasanje - Nakawuka lwa kukolebwako nga Gen. Museveni bwe yalagira gye buvuddeko
n’enguudo endala nnyingi zaakuddaabirizibwa. Yabakuutidde ku mulundi guno mu kulonda okujja bafube okulonda abo bokka abakulembeze abanaabalumirirwa nga bayita mu kubasakira era n’abasaba obuteerabira kuwa pulezidenti
Museveni kalulu.
Akulira enteekateka ya PDM,Ssozi Galabuzi yakuutidde abakulembeze mu bitundu  okufaayo okulondoola ssente gavumenti z’esindika okuyamba abantu mu bitundu byabwe n’asaba abantu okukomya okuwa enguzi abakwasibwa obuvunaanyizibwa
bwa ssente za PDM ku byalo nga baagala babasoosoowaze.