Amawulire

Kakooza awangudde ekifo eky'okukiikirira abakadde mu Buganda

OKULONDA kw’omubaka akiikirira abakadde mu Buganda kugenze okukomekkerezebwa nga James Kakooza akuwangudde ku bululu 111 ate nga Ssendi Mary yafunye obululu 50.

Kakooza ng'asanyukira obuwanguzi bwe
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

OKULONDA kw’omubaka akiikirira abakadde mu Buganda kugenze okukomekkerezebwa nga James Kakooza akuwangudde ku bululu 111 ate nga Ssendi Mary yafunye obululu 50.
James Kakooza owa NRM abadde avuganya ne Mary Ssendi (yawangulwa mu kamyufu) najja kubwa namunigina bebaabadde babbinkana mukulonda okwaabadde ku kifo kya WAKISSHA e Wakiso.
Kyokka ku makya waabaddewo okuwanyisiganya ebigambo wakati wa Kakooza ne Ssendi nga Ssendi alumiriza Kakooza okugenda mu kifo ewalondebwa kyokka nga ssemateeka w’akakiiko k’ebyokulonda tamukkiriza kulonda.
DPC wa Wakiso Esther Kiiza yayingidde mumbeera eno nagezaako okutaasa ababiri bano kyokka Ssendi nalemerako nti tayinza kukkiriza bubbi bwankukunala Kakooza bweyabadde ayagala okukozesa.
Kakooza naye yayanukudde Ssendi n’amusaba nti singa aba atidde akalulu yandibadde takagendamu okusinga ate okwekwasa obusonga obutono ekintu ekyayongedde okusajjula abawagizi b’enkambi zombi kyokka bano poliisi ne bakkakkanya.

Kakooza ng'asagambiza n'aba NRM oluvnnyuma lw'okuwangula akalulu

Kakooza ng'asagambiza n'aba NRM oluvnnyuma lw'okuwangula akalulu


Abalonzi 189 abaabadde balina okulonda okusinziira ku lukalala lw’abalonzi mu disitulikiti ezikola Buganda, abalonzi 162 bokka bebaasobodde okwetaba mukulonda kuno okwaabadde okw’okulonda akalulu k’ekyama.
Okusinziira ku akulira eby’okulonda e Wakiso, Tolbert Musinguzi, ategeezezza nti abamu baalemeseddwa olw’entambula okuba enzibu, nabamu nga baabadde bakosefu ssaako abamu ku balonzi obutawerezebwa bakulira disitulikiti.
Yannyonnyode nti buli disitulikiti yaleese abalonzi 5 abaalondebwa okusinziira ku bukiiko bwabwe obwa disitulikiti ate nga nemu lukalala lwabwe kwebali era obwedda buli alonda nga asooka kukeberebwa mu lukalala.
“Abalonzi 5 tugattako abalonzi abalala 2 abasembebwa akulira abakozi ku disitulikiti ssaako olukiiko lwa disitulikiti, olwo nekitegeeza nti abalonzi 7 betwaabadde twetaaga buli disitulikiti.” Musinguzi bweyongeddeko.
Fredrick Lutakome nga y’amyuka ssentebe w’abakadde mu Buganda yasabye omubaka waabwe okukwata kunsonga y’ebyobulamu kuba nti abakadde batawanyizibwa nga bagenze mumalwaliro okufuna obujanjabi olwa layini ennene ebaayo.
Lutakome era yasabye omubaka atwale ekiteeso mu paalamenti, ssente z’abakadde ezibawebwa nazo zitekebwe ku namba zaabwe ez’essimu nga bwekiri ku ssente za PDM, nti kuba bangi batawanyizibwa okutambula ate abalala neziggwera muntambula.
Kakooza okulangirirwa ku ky’omubaka w’abakadde mu Buganda yegasse ku Catherine Akumu Mavenjina eyayitawo nga tavuganyiziddwa okukikirira abakadde mu mambuka g’eggwanga.
Mu buvanjuba Ofwono Opondo yayitawo nga tavuganyiziddwa ate nga mu bugwanjuba bw’eggwanga, Jacqueline Susan Ruhindi Mbabazi nga mukyala wa Amama Mbabazi yeyayitamu nga tavuganyiziddwa
Tags: