Amawulire

Poliisi eyodde 111 ku by'okutigomya Kampala n'emiriraano

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto by’okufuuza abeenyingira mu bumenyi bw’amateeka mu Kampala n’emiriraano bw’ekoze ebikwekweto mu Kampala n’emiriraano n’eyoola abantu 110 n’ebaggalira mu kikwekweti baatuumye “fukuza mafisada”.

Poliisi eyodde 111 ku by'okutigomya Kampala n'emiriraano
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

POLIISI eyongedde amaanyi mu bikwekweto by’okufuuza abeenyingira mu bumenyi bw’amateeka mu Kampala n’emiriraano bw’ekoze ebikwekweto mu Kampala n’emiriraano n’eyoola abantu 110 n’ebaggalira mu kikwekweti baatuumye “fukuza mafisada”.

 

Kino kiddiridde poliisi okuyimirizaamu mu bikwekweto mu biseera by’okulonda ekyaviirako abamenyi b’amateeka okweyongera mu bikolwa ebimenya amateeka ekyawalirizza poliisi okusitukiramu ekole ebikwekweto okusobola okubafuusa.

Ebimu ku biragala bye baabakutte nabyo.

Ebimu ku biragala bye baabakutte nabyo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala yagambye nti ebikwekweto ebyakoleddwa mu Kampala n’emiriraano byagendereddwa okulwanyisa obubinja bw’abavubuka obuteega okulondoola abantu ne bubabbako ebintu byabe naddala mu budde obw’ekiro.

 

Yagambye nti mu kiro ekyakeesezza Ssande, abaserikale okuva ku poliisi y’e Mukono  bakoze ekikwekweto mu bitundu okuli Kigombya, Mukono central nga mu kikwekeeto kino abantu 11 be bakwatiddwa ne batwalibwa ku poliisi e Mukono.

 

Yategeezezza nti era poliisi ya CPS mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano Kampala nayo yakoze ekikwekweto mwe yakwatidde abantu 100 okuva mu bitundu eby’enjawulo okuli ku katale e Nakasero, Entebbe Road , Nasser Road, emabega wa Mukwano n’awalala ng’abaserikale ekutte abantu 100.

Abamu ku bavubuka be baakutte.

Abamu ku bavubuka be baakutte.

Yagambye nti mu bikwekweto bino abaserikale bakutte abavuba n’emisokoto gy’enjaga nga bamaze okuzinga balinze kutunda.

 

Yagambye  nti abaayoleddwa poliisi ya CPS mwabaddemu n’abo poliisi b’ezze ekwata enfunda eziwera olw’okwenyigira mu bikolwa eby’okuteega abantu ne bababbako ebintu byabwe ng’amasimu, ensawo wamu n’okusumulula ebintu ku mmotoka n’okuziggula naddala mu biseera eby’akalippagano.

Tags:
Amawulire
Kampala
Miriraano