WUUNO omuyizi abadde akuba bbulooka okufuna ebisale yafunye 15 ng’ate abadde asoma ayosa ng’okusinga obuwanguzi y’abwesigamizza ku pass PLE wa bukedde ne nnanyini ssomero abadde oluusi amuddiramu n’asoma nga tannasasula.
Joshua Nabasa 13, omuyizi ku ssomero lya Kingdom Junior school erisangibwa ku luguudo lw’e Bombo yafunye 15 ng’ebisale by’essomero abadde abijja mu kukuba bbulooka ne kitaawe Alex Byabagambe omutuuze w’e Kigoogwa mu disitulikiti y’e Wakiso .
Nabasa yagambye nti ennaku ezimu teyazisomanga ng’alina okusigala akube bbulooka kuba mwe mubadde muva ebisale by’essomero.
Yagambye nti alina baganda be abalala bonna kitaabwe y’abaayigiriza omulimu gw’okuba bbulooka ng’okuyita yakutadde ku PASS PLE wa Bukedde ng’ono kitaawe abadde amumugulira
Yagambye nti maama waabwe yafa ne basigala ne taata waabwe ng’asaba Katonda awangaaze kitaawe asobole okumulabirira ng’akuze.
Yagambye nti omulimu gwa bbulooka mw’aggye ssente okulabirira ffamire ye wabula ng’alina okusoomoozebwa kw’asanga okuli abatwala bbulooka ku bbanja ne bagaana okusasula, mu biseera by’enkuba baba tebasobola kukuba bbulooka kuba bazikubira mu ntobazzi waba wajjudde amazzi .