ABAYIZI 1261 batikiddwa mu masomo ag’enjawulo ku ttendekero ly’Obwakabaka erya Buganda Royal Institute nga bano bawereddwa satifikeeti ne dipuloma.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yeyakuliddemu omukolo guno era yasinzidde wano n’akunga abavubuka okwenyigira ku kuzimba n’enkulakulana y’ensi yaabwe.

Abamu ku baana abatikkiddwa mu masomo ag'enjawulo
Mayiga yakiggumizza nti abavubuka bano gwe mutima gw’eggwanga era n’alaga nti ensi yonna okukula kisinzira ku bavubuka abagirimu n’obukugu bwe balina.
Omukolo guno gwabadde ku kitebe ky’ettendekero lino ekisangibwa e Kakeeka-Mmengo mu Divizoni y’e Lubaga ku lwokutaano January 30,2026 n’agamba nti abavubuka abakuza ensi babeera abo abasobola okwawula ekituufu ku kikyamu.
“Njagala mujjukire mwe abatikiddwa olwaleero nti eky’obugagga ekisinga obunene Uganda kyerina, si mafuta, si zaabu, si butonde bwensi, eky’obugagga ekisinga Uganda kyerina bwe bungi bw’abavubuka. Mwe kyabugagga ekisinga obukulu kwetulina mu Uganda eno. Abavubuka ababanguddwa nebasalawo okuba abakozi, bajja kwezimba. Ate bwebaneezimba n’eggwanga lijja kuzimbibwa,” Mayiga bweyakunze abavubuka okusitukiramu ku nsonga z’enkulakulana y’eggwanga lyaabwe.

Abazinyi nga basanyusa abantu ku graduation
Okusinzira ku kubala abantu mu Uganda okwa 2024, abantu obukadde 10.4 bali wakati w’emyaka 18-30 ate abantu obukadde 23.2 bali wakati w’okuzaalibwa n’emyaka 17.
Minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda, Coltilda Nakate Kikomeko yeebazizza abazadde b’abayizi abaatikkiddwa olw’okutuukiriza obuvunanyizibwa buno n’alaga obwenyamivu nti okusinzira ku bibalo ebyaava mu kubala abantu okwa 2024 kwalaga nti abavubuka ebitundu 42 ku 100 abali wakati w’emyaka 15-24 tebasomangako, tebalina wadde emirimu.
Nakate yakowoodde bonna abaasomesebwako ensawo ya Kabaka ey’ebyenjigiriza okubeera bammemba mu kibiina ekibatta bonna abazze bawererwa ensawo eno.
Angel Babirye nga muyizi w’emisono yeyasinze banne n’addirirwa Expedito Ssekweyama eyasomye eby’obulambuzi era baakwasiddwa engule saako n’ebbaasa ya 500,000/- buli omu.

Omu ku batikkiddwa ng'ali ne Katikkiro
Akulira ettendekero lino, Joseph Balikuddembe Ssenkusu yateegeezzezza nga bwebali mu nteekateeka y’okuzimba ekisulo eky’omulembe ekinabeeramu abayizi abasukka 500 okubanguyiza emisomo nga bava kumpi nebayingira ebibiina.
Omukolo guno gwetabiddwako Omukubirizza w’OLukiiko lwa Buganda, Patrick Mugumbule, Omukubirizza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omubaka omulonde owe Lubaga South, Eugenia Nassolo, Sheikh Ibrahim Ntanda, Omumyuka wa Supreme Mufti wa Uganda, Baminisita, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda n’abalala bangi.
Ku bayizi bano abaatikiddwa, Omukaaga gwabadde guwererwa ekitongole ki international Organization for Migration nga bano baali bakolera bweru wa Uganda nebazibwa kuno