Amawulire

Munnansi wa India agambibwa okusobya ku mwana atanneetuuka asindikiddwa Luzira

Ali Syed 35, ono nga munnansi wa India omutuuze wa Kisekka ku katale mu disitulikiti y’e Kampala ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ritah Newumbe Kidasa eyamusomedde ogw'okusobya ku mwana atanneetuuka n’agwegaana.

Munnansi wa India agambibwa okusobya ku mwana atanneetuuka asindikiddwa Luzira
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision

MUNNANSI wa India asindikiddwa mu kkomera e Luzira lwa kusobya ku mwana atanneetuuka

Ali Syed 35, ono nga munnansi wa India omutuuze wa Kisekka ku katale mu disitulikiti y’e Kampala ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ritah Newumbe Kidasa eyamusomedde ogw'okusobya ku mwana atanneetuuka n’agwegaana.

Okusinziira ku mpaaba ya kkooti kigambibwa nga January 23, 2026 ku kizimbe kya Queen Tower ku katale ka Kisekka mu Kampala yakozesa omwana atannetuuka ono nga yali wa myaka 16 ekintu ekikontana n’amateeka ga Uganda.

Okunoonyereza kwakolebwa wabula Syed ne yeegaana era baagenda mu maaso okukebera omwana ebbaluwa y’eddwaliro yakiraga lwatu nti ddala omwana baali bamutunuza mu mbuga za sitaani.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa omuwaabi wa gavumenti, Grace Amy lw’ategeezezza nga okunoonyereza ku musango guno bwe kuwedde n'asaba kkooti okubawa obudde okuteekateeka abajulizi mu musango gutandike okuwulirwa.

Omulamuzi Kidasa yateegezezza Syed nga bw’alina olukusa okusaba okweyimirirwa wabula abantu be babadde tebaliiwo mu kkooti era n’amusindika ku mmeere e Luzira okutuusa nga February 18, 2026 okutandika okuwulira omusango wamu n'okusaba okweyimirirwa.

Tags:
India
Luzira
Mwana
Kusindika