NAIROBI, Kenya
KING Charles III ne mukyala we Kkwiini Camilla batuuse e Kenya ku bugenyi bwa nnaku nnya(4) wakati mu maloboozi agaasituse nga gasaba Kabaka ono yeetondere Bannakenya olw’ettemu n’okutulugunya Abangereza bye baakolayo bwe lyali likyali ttwaale lyabwe.
Abadde akiteeka ku emu ku ntaana, z'abalwanyi ba Mau Mau eri mu kibangirizi kya Uhuru Gardens, Kenya we yafunira obwetwaze
Charles 74, eno y’ensi ya Africa eyaliko wansi wa Bungereza gya’soose okukyalira bukyalira okuva lwe yatuuzibwa ku Namulondo ng’asikira nnyina, Queen Elizabeth II eyafa mu September w’omwaka oguwedde.
Ayaniriziddwa Pulezidenti William Ruto, atenderezza obugenyi buno n’agamba nti bwa kutumbula enkolagana wakati w’amawanga gombi n’okugogola akakuku Bannakenya ke babadde nako ku Bangereza olw’ebikolobero ebyakolebwa bajjajjaabwe mu myaka gya 1950.
Guno mulundi gwakuna nga Charles akyala e Kenya newankubadde egyasooka yali tannafuuka Kabaka, nga ne nnyin Elizabeth gye yali akyadde mu 1952, balyoke bamubikire kitaawe, King George VI, n’alyoka afuuka Kkwiini, ekifo kye yamazeeko emyaka 70 okutuusa lwe yafudde.
Oluvannyuma lw’okwogeramu ne Ruto, Kabaka Charles atadde ekimuli ku ntaana y’omu ku balwanyi ba Mau Mau abattibwa Abangereza mu Uhuru Gardens, Kenya we yaweerwa Obwetwaze mu December 1963.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Olubiri lwa Buckingham Palace kyategeezezza nti Charles wa kwongera okunnyonnyolwa ku bikolobero Abangereza bye baakola ku Bannakenya alabe engeri ey’okubikwatamu.