OBUGENYI bwa Kabaka Charles III e Kenya bubuutikiddwa ebikolobero Bungereza bye yatuusa ku Bannakenya mu biseera ebyokulwanirira obwetwaaze.
Amangu ddala nga Kabaka Charles yaakatonnya mu Kenya ne mukyala we Camilla, amaloboozi gaasitukiddewo nga Bannakenya basaba Charles yeetondere Bannakenya olw’ettemu n’okutulugunya Abangereza bye baabakolako bwe lyali likyali ttwaale lyabwe.
Newankubadde obugenyi buno bwagendereddwaamu okuteekawo enkolagana ey’omuggundu wakati wa Bungereza ne Kenya, ebyaliwo emyaka egiyise nga ab’e Kenya balwanirira ettaka lyabwe mu kye baatuuma Mau Mau okuliggya ku Bangereza byabuutikidde obugenyi buno.
Charles 74, eno y’ensi ya Africa gyasoose okukyalira okuva lwe yatuuzibwa ku Nnamulondo ng’asikira nnyina, Kkwiini Elizabeth II eyafa mu September w’omwaka oguwedde.
Charles yayaniriziddwa Pulezidenti William Ruto, eyatenderezza obugenyi buno n’agamba nti bwa kutumbula enkolagana wakati w’amawanga gombi n’okugogola akakuku Bannakenya ke babadde nako ku Bangereza olw’ebikolobero ebyakolebwa bajjajjaabwe mu myaka gya 1950.
LWAKI BAAGALA CHARLES YEETONDE
Mu myaka gya 1952 okutuuka mu 1960 kigambibwa nti Abangereza abaali abafuzi b’ettwaale eryo mu kiseera ekyo baatirimbula Bannakenya abasukka mu 10,000 olw’okuvaayo ne balwanirira ebyabwe omwali n’ettaka mu lutalo lwe baatuuma Mau Mau.
Kigambibwa nti abantu bano naddala Abakikuyu baakwatibwanga Abangereza abaalina emmundu ne babasibira mu nkambi gye baabatulugunyizanga n’okubatta awatali abataasa.
Guno mulundi gwakuna nga Charles akyala e Kenya newankubadde egyasooka yali tannafuuka Kabaka, nga ne nnyina Elizabeth gye yali akyadde mu 1952, balyoke bamubikire kitaawe, King George VI, n’alyoka afuuka Kkwiini, ekifo kye yamazeeko emyaka 70 okutuusa lwe yafudde.
Oluvannyuma lw’okwogeramu ne Ruto, Kabaka Charles yatadde ekimuli ku ntaana y’omu ku balwanyi ba Mau Mau abattibwa Abangereza mu Uhuru Gardens, Kenya we yafunira Obwetwaaze mu December wa 1963.