Bya Dickson Kulumba
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asindikidde Kabaka Charles III ow’e Bungereza obubaka obwongera okunyweza enkolagana wakati w’Obwakabaka bwombiriri.
Obubaka buno yabutadde mu bbaluwa gye yatisse Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga eyabukwasizza Omulangira w’e Edinburgh mu Bungereza Edward Antony Richard Louis eyakyadde e Bulange-Mmengo ku Lwokusatu, March 20, 2024 naye eyeeyamye okubutuusa obutereevu eri Kabaka w’e Bungereza.
Omulangira Edward eyabadde n’Omubaka wa Bungereza mu Uganda, Kate Airey n’abakungu abalala yabadde azze okubeerawo ng’omusaale ng’ekitongole kye ekiyitibwa Duke of Edinburgh International Award kitta omukago n’Obwakabaka bwa Buganda. Ekitongole ekyo kiruubirira okusitula embeera z’abavubuka nga babatendeka mu bintu ebitali bimu mu bulamu obwabulijjo.
Ku lw’Obwakabaka, Roland Ssebuwufu, akulira emirimu mu kitongole ky’Obwakabaka ekikola ku busizi bw’ensimbi ekya Buganda Investments & Commercial Undertakings Ltd nga yajuliddwa Minisita w’abavubuka mu Buganda, Robert Sserwanga, ate William Blick, akwanaganya emirimu gy’ekitongole kino mu Uganda n’ateekako omukono ku lwakyo.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga nga ye yayanirizza omugenyi ono yatenderezza omulimu guno ogukolebwa mu kusitula abavubuka n’agamba nti, ekyo kikwatagana n’okulabisibwa kwa Kabaka eyawaayo omulembe gwe eri abavubuka ng’agenderera okulaba nga basituka.
“Kabaka Ronald Mutebi II
omulembe gwe yaguwa abavubuka nga 3/08/2002 nga yaakamala emyaka 9 ku Nnamulondo era enteekateeka eno n’omukago tulowooza nti, ejja kuyamba okusitula abavubuka,” Mayiga bwe yategeezezza.
Mayiga yayongedde n’ategeeza ng’Obwakabaka bwe Bungereza obulina emyaka 1200 n’obwa Buganda obulina emyaka 900 bwe buli obumu ku businga obukadde mu nsi nga kirungi okunyweza enkolagana, era n’alaga n’obwetaavu bw’okukuuma obutonde bw’ensi obwatuusa Winston Churchill eyali Katikkiro wa Bungereza okuyita Buganda ekkula lya Afirika.
Oluvannyuma lw’endagaano eno, Katikkiro yalambuzza Omulangira Edward ebimu ku bifaananyi by’ebyafaayo ebiri mu Bulange era n’amwanjulira Abalangira Crispin Jjunju ne David Wasajja, baminisita n’abakungu abeetabye ku mukolo.
Edward nga ye mwana omuto owa Elizabeth (abadde Nnabakyala wa Bungereza) n’Omulangira Philip, yajja mu Uganda ku lugendo lw’ennaku essatu era okujja kwe e Bulange kwabadde kwa byafaayo nti wabadde wayise emyaka 61 bukya Duke of Kent Edward (Naye Omulangira w’e Bungereza) ajja Bulange nga October 8, 1962 ku mukolo ogwakomya endagaano Bungereza ze yalina ne Buganda mu kiseera ky’abafuzi b’Amatwale.