KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II acamudde Obuganda bw’alabiseeko mu Lubiri lwe e Mengo.
Abaalabye ku Kabaka baabadde bantu be okuva mu ggombolola ya Mumyuka Busimbi ng’eno y’etwala ekibuga Mityana mu ssaza ly’e Ssingo abaabadde bamuleetedde Amakula.
Kabaka ng’anekedde mu ssuuti n’ettaayi, yatuuse mu Lubiri ku ssaawa 6:30 ez’ettuntu g’Olwokusatu eggulo nga October 30, 2024.
Ssewava Ng'ayaniriza Kabaka Mu Lubiri E Mmengo. (ekifaananyi Kya Bbs)
Bwe yatuuse ku luggya lwa Twekobe, n’ava mu mmotoka n’awuubira ku bantu be bano abaamwanirizza wakati mu mizira.
Olwamalirizza okubawuubirako nabo okumwaniriza, yakyuse n’atunula mu mulyango gwa Twekobe n’ayanirizibwa omukungu akulira Olubiri luno Robert Ssewava, olwo n’ayingira okukola emirimu gye.
Bangi abaamulabyeko baalowoozezza nti azzeemu okukola emirimu gye kyokka Bukedde bwe yabuuzizza minisita w’amawulire mu Buganda, Israel Kazibwe, yategeezezza nga kino bwe kyabadde ng’okulambula kwe okwa bulijjo kw’akola ng’alambula ebifo n’ebitundu eby’enjawulo.
“Ku mulundi guno, okufaananako n’emirundi emirala egiyise, Kabaka yalabiseeko mu Lubiri okubeerako by’akola nga bulijjo bw’abadde akikola. Mumulaba mu bitundu eyo ng’agenda n’alambula abantu n’ebifo bye,” Kazibwe bwe yategeezezza.
Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde October 25, 2024, Kabaka era yalabikako mu Lubiri muno okubeerako bye yeetegereza era yalabibwa ng’awuubira ku baana b’essomero erimu abaali bazze okulambula Olubiri.
Kabaka yabadde mu Twekobe okutuusizza ddala olweggulo lwe yafulumye n’addayo mu Lubiri lw’e Banda.
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omukungu Moses Luutu yabuulidde Bukedde ng’essanyu bwe lijuze okubatta olw’okulaba ku Kabaka.