EBBAGO ly'etteeka lyanjuddwa mu Palamenti nga ligendereddwaamu okulemesa ebibiina by’ebyobufuzi okufuna obukadde bwa ssente! Omubaka Faith Nakut (mukazi/ Napak) era omuwanika w’akabondo k’ababaka ba NRM ayanjudde ebbago ly’etteeka, erya "Political Parties and Organisations Amendment Bill 2025", mu lutuula lwa Palamenti wiiki eno nga mulimu obuwaayiro obulambika engeri ebibiina by’ebyobufuzi ebirina ababaka mu Palamenti gye binaafunangamu ssente okuva mu kakiiko k'ebyokulonda Wabula abatunuulizi b'ebyobufuzi ebbago balitapuse nti ligendereddwa okulemesa ekibiina kya NUP okuddamu okufuna ssente okuva mu Gavumenti nga babalanga buteetaba mu nkiiko z’ekibiina ekigatta ekibiina ebirina ababaka mu Palamenti ekya IPOD.
Omubaka Nakut yannyonnyodde Palamenti nti etteeka ligendereddwaamu kulaba ng’ebibiina byokka ebyetaba mu nkiiko okuli olugatta ebibiina byonna olwa National
Consultative Forum (NCF) n’olugatta ebibiina ebirina ababaka olwa Inter-Party Organisation for Dialogue (IPOD) bye bifuna ssente. Nakut agamba nga bayita mu bibiina ebyo waggulu y’engeri ennyangu, Gavumenti gy’esobola okulondoola enkozesa ya ssente eziweebwa ebibiina by’ebyobufuzi.
Ku bibiina 7 ebikiikirirwa mu Palamenti, NUP yokka ye yagaana okwetaba mu ntuula za IPOD, ekitegeeza nti singa etteeka liyisibwa mu mbeera mwe liri baba tebaddamu kufuna ssente.
OBUWUMBI 5 N'OBUKADDE 700 Lipooti eyafulumizibwa omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eya 2024 yalaga nti ebibiina ebikiirirwa mu Palamenti omwaka ogwo byafunye obuwumbi 44 n’obukadde 900 okuva mu kakiiko k’ebyokulonda.
EBIBIINA NGA BWE BIFUNA SSENTE
Ekibiina kya NRM ekirina ababaka 335 kyafuna obuwumbi 34 n’obukadde 100
ne kiddirirwa NUP abalina ababaka 57 abaafuna obuwumbi 5 n’obukadde 700. FDC abalina ababaka 31 baafuna obuwumbi busatu n’obukadde 100, DP ne UPC abaalina ababaka 9 baafuna obukadde 908 buli kibiina. JEEMA erina omubaka omu yaweebwa
obukadde 100 n’emitwalo 90 ate PPP nabo abalina omubaka omu ne bafuna obukadde 100 n’emitwalo 80.
ABA NUP BAWANDA MULIRO
Omuwanika wa NUP, Benjamin Katana yagambye nti etteeka lireeteddwa mu mutima
gw’okubanafuya nga NUP nga babaggyako ssente ze bafuna. Yagambye nti NUP yatondebwawo lwa maanyi ga bantu nga tebalina ssente yonna gye bafuna okuva mu Gavumenti kyokka nga bayimirirawo ku buyambi obuweebwa Bannayuganda.
“Ssente tuzifunira mu tteeka olw’okuba tulina ababaka mu Palamenti era ekyo tetwetaaga kufukaamirira muntu yenna. Gavumenti eyagala kwerabisa nti ekolagana n’ebibiina ebiralaate ng’ekituufu kimanyiddwa nti etuyigganya ng’esiba abawagizi baffe n’okulumba ofiisi zaffe entakera,” Katana bwe yagambye. Katana yagambye nti Gavumenti bw’eba ewulira ng’eyagala nteeseganya ezikolere mu mukago gwa National Consultative Forum gye bamyuka ssentebe w’omukago. Naye ebya IPOD yabiyise bya kwagala kwerabisa kyokka.
Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya yagambye nti kyewuunyisa okuleeta etteeka ng’okaka omuntu okukolagana naawe ku kifuba. Ebikolebwa mu IPOD yagambye nti tebakkiriziganya nabyo kuba yatondebwawo muntu ssekinnoomu kye baava baasalawo okusigala mu NCF etondebwawo etteeka nga John Wasswa: Ssente
ezo bwe ziba weeziri baziwe ebibiina. Lwaki bagaana okuzibiwa olw’okuba tebitakkiriziganya na kibiina kiri mu buyinza! Tonny Kisitu: Eryo etteeka lye baleeta ndaba banyigiriza bibiina bya bufuzi. Ssente ezo baazissaawo nga za kuweebwa bibiina ebyo kati baagala kufukamiza bibiina bye bavuganya nabyo. Betty Nanyonga: Sikkiriziganya na tteeka lye baleeta mu Palamenti.
Ssente ezo ziweebwa ebibiina ebyo mu butuufu era tewali kibiina kizikoseza bubi. Baagala kunyigiriza bibiina. Abantu bye bagamba Bosco Ssanya: Etteeka eryo tebalireeta mu mutima mulungi kuba ssente ezo ziri mu mateeka. Naye ebigendererwa
by’okussaawo IPOD byali birala nnyo. n’emirimu gyayo girambuluddwa
bulungi.
ABALALA KYE BOOGERA KU TTEEKA
Hassan Kaps Fungaroo (Obongi) era akulira ebyokukunga mu FDC yagambye nti etteeka ligezaako okukaka ebibiina bigende mu mukago basobole okutambulira ku
ntoli z’ekibiina kya NRM ekiri mu buyinza.
Yagambye nti abaagala okumanya embalirira ya ssente ze bafuna balina kugenda mu kakiiko k’ebyokulonda kuba bakawa embalirira yaazo buli mwaka era tebalina kye baali beemulugunyizza ku nkozesa yaazo. “Bwe baba tebaagala kutuwa ssente babireke naye
nga tusigazza obwetengereze bw’okwesalirawo nga bwe twagala. Tewali muntu ajja kutukozesa
kikyamu nga FDC olw’okuba atusuubizza okutuggyako ssente,” Fungaroo bwe yagambye. Omwogezi wa NRM, Emmanuel Dombo yagambye nti si kya bwenkanya
ekibiina kyonna okutwala ssente z’omuwi w’omusolo nga si beetegefu kwetaba mu bibiina nga IPOD ebibagatta. “Ebibiina byonna biteekwa okukolaganira awamu wabeerewo okuwuliziganya ku nsonga ez’enjawulo. Bwe baba nga bo batunuulira kimu kya kufuna ssente, kibeera kiraga nti si beesimbuDombo bw’agamba.
Akwanaganya emirimu gy’ekibiina kya ANT, Alice Alaso yagambye nti etteeka terireeteddwa mu mutima mulungi kuba baagala kukwasizaako bibiina
ebiviganya bikole bye baagala. Sarah Birete, akulira ekibiina ky’obwannakyewa ekirwanirira enfuga egoberera amateeka ekya Centre for Constitutional Governance yagambye nti ekikolebwa okukaka ebibiina okugenda mu IPOD kikyamu. Yagambye nti obuzibu obuli ku IPOD tewali muntu alambuluddwa ayita enkiiko zaabwe obutafaanana
nga NCF emanyiddwa nti enkiiko zaayo ziyitibwa kakiiko ka byakulonda
Comments
No Comment