KKOOTI esindise omusajja mu kkomera amaleyo emyaka esatu lwa kusangibwa na masanga ga njovu mu bukyamu.
Julius Semi Oote, omutuuze w’e Kumi ye yasindikiddwa mu kkomera oluvannyuma lw’okukkiriza omusango era ne gumusinga.
Oote Mu Kaguli Ka Kkooti Ng'awuliriza.
Oote yasangibwa n’amasanga g’enjovu 12 nga gazitowa kkiro 24.6 nga teyalina lukusa wadde ebbaluwa emukkiriza okugasuubula.
Omulamuzi wa kkooti y’ebisolo,amasannyalaze ,obutonde bw’ensi n’amazzi, Gladys Kamasanyu bw’abadde asalira Oote agambye nti weetaagisaawo ekibonerezo ekikakali kubanga okutta enjovu kweyongedde nnyo.
Kamasanyu agambye nti enjovu ze zimu ku nsolo ez’ebbula ku lukalu lwa Africa ng’ate zireeta abalambuzi eggwanga ne lifunamu ssente eziyamba abantu nga ne Oote mw’ali.
Ayongeddeko nti noolwekyo kyetaagisawo ekibonerezo ekinaamubyamba okweddaabulula n’okuziyiza abalala okuzza emisango ejo.
Yamusibye emyaka 3 nga baakutoolako emyezi gy’amaze mu kkomera okuva nga July 3,2024 lwe yasibwa.
Oote 47, mutuuze w’e Katirekori mu disitulikiti y’e Kumi era emisango yagizza nga June 27, 2024 e Kireka mu Kampala okumpi ne Equity Bank. Ono yasangibwa n’amasanga nga gabalirirwamu obukadde 12.