OMUWALA ow'emyaka 26 e Butalejja bamulongoosezzazmu abaana basatu bba ow’emyaka 46 n’asiima Katonda okumukolera eky’amagero nga kati bawezezza abaana 7.
Nuru Higenyi 26, mukyala wa Ibrahim Lubayo 46 abatuuze b’e Kachonga mu disitulikiti y’e Butalejja Katonda be yawadde eky’amagero Igenyi mu ddwaaliro ly’e Busolwe okuli abawala babiri n’omulenzi omu buli mwana yabadde n’obuzito bwa kkiro 3.
Abaana Ba Higenyi Be Baamulongoosezzaamu.
Omusawo omuzaalisa mu ddwaaliro ly’e Busolwe Grace Akinyi yagambye nti abaana ba Higenyi baabamulongosezzaamu ku Lwokutaano ng’omu yabaddemu n’omusujja ne bamujjanjaba kati bali mu mbeera nnungi.
Mu ddwaaliro lye limu, tegunnawera na mwezi nga Mwajuma azadde abaana 4 era ono abasawo ye baamwongerayo mu ddwaaliro e Mbale.
Ibrahim Lubayo 46, Taata wa baana ate ssentebe wa LC ll mu muluka gwa Kachonga mu disitulikiti y’e Butalejja ng’akola gwa Bulimi yagambye nti babadde n’abaana 4 nga bawezezza 7 .
Yasabye abazirakisa okumudduukirira ku nnamba 0755689098 ereeta amannya ge kuba abaana abasatu mu kiseera kino tabasobola kubalabira yekka okuggyako ng’afunye amukwasizaako.