Gwe baakutte n'obuwanga bw'abafu 40 mu ssabo atuuyanye bwe zikala

Godfrey Ddamulira Godfrey y’asangiddwa n’obuwanga buno era obwedda atuuyana bwe zikala oluvannyuma lw’okumuteeka ku nninga annyonnyole lwaki buno buli wuwe.

Gwe baakutte n'obuwanga bw'abafu 40 mu ssabo atuuyanye bwe zikala
By Martin Kizza
Journalists @New Vision
#Nateete #Poliisi #Kitaka Zzooni #Amawulire

Ekitongole kya Crime Intelligence eky’e Nateete nga kikulembeddwa OC CID Harriet Kusiima, wamu ne OC Fred Idbgere nga bali wamu n’akulira abasawo b’ekinnanasi, Walyabira Karim basazeeko essabo mu Kitaka Zzooni e Busega ne bagwa ku buwanga bw’abantu obusoba mu 40!

Obuwangwa obwasangiddwa mu ssabo.

Obuwangwa obwasangiddwa mu ssabo.

Godfrey Ddamulira  y’asangiddwa n’obuwanga buno era obwedda atuuyana bwe zikala oluvannyuma lw’okumuteeka ku nninga annyonnyole lwaki buno buli wuwe.

Essabo lye libadde liwunya ekivundu eky’amaanyi nga buli obwedda ayingirayo avaayo akutte ku nnyindo!

Abantu beesombodde okulaba ku nnabe ono kyokka bakubiddwa encukwe olw’omuntu gwe babadde bamanyi okumusanga n’obuwanga buno.

Ddamulira eyakwatiddwa ng'atunula bikalu.

Ddamulira eyakwatiddwa ng'atunula bikalu.

Abakubakulembeze bategeezezza nti ono bamaze naye emyaka emyaka egisoba mu 30 era babadde tebasuubira nti ayinza okwenyigira mu kikolwa nga ekyo. Basabye abakulira abasawo bano okuvaayo okukola ebikwekweto okulawunanga abantu basobole okuzuula abantu ekika bw’ekiti.

Abaserikale n'abatuuze nga beetoolodde essabo lya Ddamulira eryasaliddwako.

Abaserikale n'abatuuze nga beetoolodde essabo lya Ddamulira eryasaliddwako.

Ssaalongo Walyabira ategeezezza nti bali ku kaweefube ow’okulaba nga bassa ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga ku nkola nti kuba yabalagira okufuuza abasawo ab’ekikwangala.

Essabo poliisi eryetoolozza obukuumi ow’amaanyi okusobola okudda okwaza ku lunaku oluddako kuba we yatuukiddeyo ng’obudde buwungeera.