Agambibwa okukuba Majembere asimattuse ekkomero

KKANSALA w’e Kitebi Nnyanama, George Norman Mukasa, asimattuse e kkomera ku bigambibwa nti yakuba ssentebe wa NRM mu Lubaga, Ivan Kamuntu Majambere.

Agambibwa okukuba Majembere asimattuse ekkomero
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
KKANSALA w’e Kitebi Nnyanama, George Norman Mukasa, asimattuse e kkomera ku bigambibwa nti yakuba ssentebe wa NRM mu Lubaga, Ivan Kamuntu Majambere.
 
Mukasa Kigambibwa nti nga June 19, 2025 e Kitebi, ku lunaku lw’okulonda abavubuka mu Lubaga wakati mu kavuvungano, yawumiza Majambere agakonde agamuviirako okufuna obuvune.
 
Oluvannyuma lw’ekikolwa kino, yasimbiddwa mu maaso g’akulira abalamuzi ba kkooti ya Mwanga II e Mengo ow’okusatu Mariam Ssemwanga Naluggya eyamusomedde ogw’okukuba omuntu.
 
Ono yawanjagidde omulamuzi okuyimbulwa n’akkirizibwa era n’ateebwa ku kakalu ka kkooti ka kakadde kamu ez’obuliwo n’abamweyimiridde kamu ezitali zaabuliwo, kkooti n’emulagira okuddamu okweyanjula nga July 17, 2025. 
 
Mu kkooti, Majambere agambibwa okukubibwa teyalabiseeko okuggyako ba kkansala abalala abaawerekedde munnaabwe Mukasa.Kigambibwa nti mu kulonda, Majembere yagezaako okukuba Mukasa ensambaggere kyokka mu kwanukula naye n’amuddiza ng’amuwumiza agakonde ag’okumukumu. 
 
Wano kyogerebwa nti amasasi okuva mu mukuumi wa Majambere gaakubwa era bangi baakosebwa ku olwo.Poliisi okuva e Nateete yajja n’etaasa embeera bangi ne bakwatibwa okwali ne kkansala ono eyasimbiddwa mu kkooti.
 
Omu ku Bakkansala Ronald Mutumba, yasanyukidde eky’okuteebwa kwa Mukasa kyokka n’awanajagira kkooti n’abalala abaasibwa ku nsonga z’ebyobufuzi nabo okuyimbulwa.
 
End….