Amawulire

Green Schools Project ; Bishops SS Mukono basimbye paasikalamu okugoba mukoka ku lusozi

Bishops Secondary School Mukono eri ku mwanjo nnyo mu gamu ku masomero agakyasinze okubeera n’emiti okwetooloola n’ebimuli ssaako muddo omusimbe

Green Schools Project ; Bishops SS Mukono basimbye paasikalamu okugoba mukoka ku lusozi
By: Khasifah Naava, Journalists @New Vision

Bishops Secondary School Mukono eri ku mwanjo nnyo mu gamu ku masomero agakyasinze okubeera n’emiti okwetooloola n’ebimuli ssaako muddo omusimbe.

Omuddo Gwe Baasimba Mu Ssomero.

Omuddo Gwe Baasimba Mu Ssomero.

Okusinziira ku amyuka essomero lino, Andrew Hannington Nsereko annyonnyola nti essomero  lisangibwa mu kibuga kye Mukono era lirina abaana 3100 abawala n’abalenzi. Litudde ku bugazi bwa yiika 32 era liriraanye Uganda Christian University Mukono.

Esomero ku musingi gw’e Kikristaayo lyatandikibwawo mu 1910 nga lya bawala bokka era lyazimbibwa Abaminsane nga bakulemberwa Gordon Brown.

Ekifo Ente We Zinywera Amazzi Ku Ssomero Lino.

Ekifo Ente We Zinywera Amazzi Ku Ssomero Lino.

Esomero lino lyazimbibwa wakati ku lusozi nga mu kusooka wonna waali kibira wabula bwe baali balizimba emiti egisinga we baali baagala okuzimba baagitema.

Rev. Luvumu kaweefube w’okuzaawo emiti ku ssomero lino yamutekamu amaanyi mangi n’asimba emiti mingi ddala  kumpi okwetooloola essomero mu 2000 okutuusa mu 2002,n’asimbirako n’ebimuli .

Enkoko Ze Balunda.

Enkoko Ze Balunda.

Olw’okuba lyali ku lusozi, amazzi gonna agaavanga mu lusozi waggulu gaggweeranga mu ssomero lino nga ebisooto tebiggwaawo amazzi nga tegalina we gatambulira.

Naye oluvannyuma lw’omukulu w’essomero kati aliko ,Robert Kyakulaga okujja, kye yasooka okukola kusimba muddo okwetoolooza essomero lyonna ate oluvannyuma n’akizuula nti abayizi baayitiranga mu muddo okwewala ebisito .

Egimu Ku Myala Emizimbe Gye Baakola Mu Ssomero

Egimu Ku Myala Emizimbe Gye Baakola Mu Ssomero

Yakola amakubo amazimbe obulungi agabatwala mu bibiina ne mu bizimbe eby’enjawulo,  n’agattako okutambuza obulungi mukoka nga kati yenna nga bwava mu lusozi waggulu alina emikutu egimutambuza ne gimutwala ku myala.

Bategeera batya green pulojekiti eno:

Wadde nga pulojekiti eno yabasangayo, mu kaweefube w’okukuuma obutonde omulundi ogwasooka baasooka kuyitibwa kugenda kunona miti okuva ku dayosiisi.

Wabula ennamba gye watwalanga nga ogiwandiika, ffoomu okwalinga ekigambo Green pulojekiti.era emiti gyonna nga bwe baagifuna baagisimba okwetooloola essomero lyonna.

Nsereko Omumyuka W'essomero.

Nsereko Omumyuka W'essomero.

Pulojekiti eno okwongera okugitegeera baagirabira mu mawulire New Vision, era omukulu wesomero n’asaba amumyuka mwami Nsereko okuwandiika ng’asaba nabo beetabe mu mpaka zino, bwe bwatyo ne bakkirizibwa.

Nsereko agamba nti yakizuula nga emiti mingi gye batunda ku makubo giba tegituukana na mutindo era baagala bo nga Bishops okukola Green house basimbe emmerezo z’emiti egyabwe nga gitukaana n’omutindo.

Egimu Ku Miti Emikadde Egyasooka Ku Ssomero.

Egimu Ku Miti Emikadde Egyasooka Ku Ssomero.

Pulojekiti bagituusa wa?

Nsereko agamba tatudde era ekirowoozo kino yakiguza essomero n’ababulira ssente ezeetaagisa okutandika yadde nga tezinnafunikawo.

Wabula, ekifo mwe lirina okugenda kyo weekiri. Teyakoma awo yatuukirira aba National Forest Authority mu Namanve nabo n’abeebuzaako ekirina okukolebwa ne bamusuubiza okumuwa abakugu ku bwereere okumutendeka engeri gy’alina okumezaamu emmererezi bwe banaaba bamaze okuteekawo Green House yaabwe ku ssomero.

Emmere Ya Matooke Gye Balima.

Emmere Ya Matooke Gye Balima.

Abayizi pulojekiti eno bagitegeddeko:

Wadde nga pulojekiti eno eyogerwako, tennatandika naye ng’essomero lirina pulojekiti endala ze litambuza nga mu kusooka balina ekibiina kya Environmental Club eno pulojeketi nayo bwe yajja ne bagigatta kw’eri nga kati zitambulira wamu.

Ebimu bye bakola ku ssomero mulima okukung’aanya ebisaaniko era bwe bamala nga babikung’aanya tebabyokya wabula bayita abantu ne baggyamu obucupa, obuveera n’ebirala era bye balekawo essomero lirondamu bye lisobola okukolamu ebigimusa ne babitwala ku bitooke.

Pulojekiti endala gye bakola mwe muli okulunda ente era nga kati bawezaawo ente 15 enzungu, okwo kwe bagatta okulunda enkoko eziwerera ddala 50000.

Obusa obuva mu nte babutereka ne buggwaamu ebbugumu oluvannyuma ne bukola nga ebigimusa ku bitooke ne kalimbwe n’obukuta obuva mu nkoko era babukozesa nga bigimusa.

Ekifo We Bakung'aanyiza Kasasiro Ku Ssomero.

Ekifo We Bakung'aanyiza Kasasiro Ku Ssomero.

Ente zino ze balunda zibawa amata ge bagatta mu buugi bwa bayizi n’abasomesa ate amaggi g’enkoko olumu ge balya ku Ssande.

Abantu ababeetoolodde baganyuddwa batya mu pulojekiti eno?

Kasaasiro yenna gwe bakung’aanya ku ssomero bayita abantu b’ekitundu be batwala obucupa ne bakolamu eby’omugaso ebirala. Ekirala kizibu omuntu okuyingira ku ssomero lino n’ategomba miti oba nsimba gye basimbyemu omuddo gwabwe era bangi bakoppye enkola eno.

Okusoomoozebwa: Nsereko yagambye nti yandyagadde pulojekiti etandike bunnambiro naye ssente zikyali kizibu, ate nga ekigendererwa kyabwe oluvannyuma lw’okugitandika baagala basomese abatuuze engeri gye bayinza nabo okusimba amamererezi amalungi n’okusomesa amasomero amalala nago gafunemu.

 

Pulojekiti yaakumala bbanga ki:

Eky’okusimba emiti bo tebasuubira kukikomya kubanga waliwo n’egigwa olwa kibuyaga nga weetaaga okuzzaawo emirala. Ate pulojekiti ya Green House bwe banaagitandika yaakuberawo lubeerera kubanga buli mwaka wabeerawo abayizi abafuluma ate abalala ne bayingira.

Tags:
Amawulire