Bya John Musenze
NGA Uganda egenda okukuza olunaku lw'abalina obulwadde bwa sikoseero (Nalubiri), wakyaliiwo okweraliikira olw'omuwendo gw'abakyazaalibwa n'obulwadde buno okweyongera.
Dr. Charles Kiyanga, akulira okulwanyisa sikoseero mu minisitule y'ebyobulamu agamba nti abaana abali wakati wa 20,000 ne 25,000 be bazaalibwa nga balina obulwadde buno buli mwaka kyokka eky'embi ebitundu 60 ku 100 bafa nga tebannaweza myaka 5.
Dr. Kiyanga agamba nti gavumenti essira esinze kulissa mu bitundu awasinga okubeera obulwadde buno okuli; Lango, Acholi, Busoga, Bugisu ne mu masekkati ga Uganda. Wabula ng'ebitundu by'e bugwanjuba obulwadde buno si bungi.
Agamba nti sikoseero bulwadde obusikire okuva ku bazadde bombi, maama ne taata singa bombi
baba balina akataffaali aka Nalubiri. Kino kitegeeza nti buli muzadde okusalawo kuli mu ngalo ze okutaasa omwana we ng'asooka okwekebeza ne muganzi we nga tebannalowooza ku kuzaala.
Minisitule y'ebyobulamu yatandika okussa essira ku kulwanyisa obulwadde buno mu 2015 nga mu kiseera ekyo abalwadde abaafanga baali ebitundu 80 ku 100. Kati omuwendo gw'akka bali wakati wa w'ebitundu 45 ne 50 ku 100.
Dr. Kiyanga agamba nti; gavumenti erina enteekateka okutandika okukebera buli mwana azaalibwa obulwadde buno era kino kyatandika dda mu bitundu awasinga okubeera obulwadde buno. Uganda yalondebwa mu Africa nga ensi ey'okulabirako ku ngeri y'okulwanyisa obulwadde buno.
“Twagala okukebera buli mwana azaaliibwa mu Uganda era singa azuulibwa n'obulwadde buno, tumuwa eddagala eritangira obulwadde buno okumukosa n'okumuyisa obubi. Wabula nga lino eddagala likola omwana tannassuka wiiki bbiri ng'azaaliddwa."
Dr. Kiyanga agamba nti balina enteekateeka ereeta etteeka erigaana omuntu yenna okufumbirwa nga teyeekebezza bulwadde buno wabula nga kino bajja kukikola nga bamaze okuteekawo buli ekyetaagisa okusobozesa enkola eno.
Okugeza okussaawo ebifo we bakeberera ng'omuntu asobola okumanya bw'ayimiridde nga bw'olaba bwe kiri ku siriimu.
Dr. Phillip Kasirye, akulira Sickle cell clinic e Mulago agamba nti obumu ku bukosefu bwa Nalubiri kuliko okulumizibwa mu nnyingo, okukonziba, omusujja ogw’olutentezi, okulwalalwala, okuziba amaaso n'ebizibu ebirala bingi.
Agamba nti bw'oba olina obutaffaali bwa Nalubiri, funa omwagalwa atalina butaffaali buno kuba y'engeri gy'oyinza okwewala okuzaala abaana ababulina.