MINISITA wa gavumenti z’ebitundu Raphael Magyezi ategeezezza nga eggwanga bweriri mu kaweefube w’okugonjoola ekizibu kya kasasiro mu kibuga .
Okwogera bino Magyezi abadde mu kutongoza omwoleso gw’ebibuga nga omukolo guno gubadde ku hotel Africana mu Kampala .
Magyezi ategeeza nti omwoleso gw’ebibuga gwakubeera mu site e Mbarara nga gwa kubeerawo ennaku z’omwezi 15 okutuuka nga 18 mu mwezi gwa March omwaka guno .
Agamba emyaka 4 egiweddeko gavumenti yatongoza ebibuga 10 era nga bino byonna byakwolesa byebasobodde okukola omuli embeera y’ebyenfuna , enguudo , emirimu, amasanyalaze , amakolero nebirala .
Atangaazizza ku nsonga ya kasasiro mu bibuga nategeeza nti ekikangabwa ekyagwa ekiteezi kyaleeta eky’okuyiga nti sikirungi kungaanya lusozi lwa kasasiro era gavumenti yamulagira okuleeta enkola ennungamu ku kasasiro akungaanyizibwa omuli ebyuma endabirwamu ,bikuta , ebiveera , n’ebirala nga akwatagana KCCA wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nkulakulana y’ebibuga nga kino kijja kubayamba okumalawo ekizibu kya kasasiro .
Agamba batunuulidde okuzza obuggya kasasiro abeere wamugaso eri eggwanga nga ebintu nga obuveera bisobola okudizibwa obuggya ne bikolebwamu ebintu ebyenjawulo , endabirwamu emenyefumenyefu n’ebicupa bisobola okolebwamu ebintu nga omusenyu , waliwo kasasiro asobola okolebwamu amasanyalaze n’ebirala nga bino byonna babitunuulidde okulaba nga ekibuga kyeyongera okulakulanyizibwa .
Ku nsonga y’emisolo egikungaanyizibwa mu bibuga, Magyezi ategeezezza nti Arua site etambudde nnyo okusinga ebibuga ebirala byonna nga baava ku kawumbi kamu n’ekitundu ne badda ku buwumbi nga 5 , ekibuga nga Mbarara okunyonyola engeri gye basobodde okukwasaganya emotoka ezipakinga mu bibuga (street parking) ng’ate abakozi bakozesa batono n’ebirala olwo ebibuga ebirala bisobole okuyigira ku binnaabyo engeri y’okwasaganyaamu emirimu .
Kamisona w’enkulakulana y’ebibuga mu minisitule ya gavumenti z’ebitundu Charles Magumba ye ategeezezza nti ebibuga bizimbibwa ne biteekebwateekebwa mu ngeri enungamu eyesigamizibwa ku misingi gy’ebyenfuna by’eggwanga wamu ne neteekateeka y’ebibuga nga abakulembera ebibuga okuli ba meeya ,tawuni kilaaka nabalala balina okuba nga ensonga eyo bagimanyi