Bya Ssennabulya Baagalayina
GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo eky'amazzi ekya National Water & Sewage Corporation ewaddeyo obuwumbi bwa ssente bubiri okutuusa amazzi amayonjo mu kabuga k'e Lusango n'ebyalo ebikeetoolodde.
Kaweefube ono atongozeddwa minisita omubeezi ow'amazzi n'obutonde bw'ensi, Aisha Ssekindi n'omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pasta Caleb Tukaikiriza.
Beegattiddwaako omubaka wa Kalungu East mu Palamenti, Francis Katongole Katabaazi ne Ssentebe wa LCV, Ahmed Nyombi Mukiibi n'abakungu mu by'amazzi abakuliddwa Ying. Emmanuel Mujuni.
Omulimu baagutongolezza mu kasenyi k'e Kaasokengo awasimiddwa oluzzi ne ku lusozi lw'e Mango awaziimbiddwa ttanka ng'amazzi we gannasinziira okugabanyizibwa mu batuuze.
Ssentebe wa LCI e Lusango, John Bosco Kayiira agambye nti abatuuze be n'abasuubuzi babadde baddaaga n'amazzi nga bagagula buwanana ku bagabasombera ku bugaali ng'ate si mayonjo.
Ssekindi asabye bannaabwe ab'ebibanja omugenda okuyisibwa payipu obutalemesa kuba mu nteekateeka eno teriimu mutemwa gwa kubaliyirira.