Fuso eremeredde ddereeva waayo n'esaabala abantu e Wantoni ; 3 bafu!

Akabenje kano, kabaddemu emmotoka ezisoba mu mukaaga ne pikipiki eziwerako ezaagoyeddwa, Fuso nnamba UBB 422 U ebadde etisse emigugu eremeredde ddereeva n'etomera endala abantu ne bafa n'okulumizibwa.

Fuso eremeredde ddereeva waayo n'esaabala abantu e Wantoni ; 3 bafu!
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Loole #Bantu #Kusaabala #Ddereeva #Kufa #bantu

Abantu basatu bafudde n'abalala 9 ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Wantoni e Mukono.

Akabenje kano, kabaddemu emmotoka ezisoba mu mukaaga ne pikipiki eziwerako ezaagoyeddwa, Fuso nnamba UBB 422 U ebadde etisse emigugu eremeredde ddereeva n'etomera endala abantu ne bafa n'okulumizibwa.

Abafudde, kuliko abasajja babiri n'omwana omulenzi omu era nga tebannamanyika bibakwatako.

Abalumiziddwa kuliko Paul Ssaku, Zafafu Bakiti, Bashir Ssaza, Gerald Lubega, Jackson Kakumirizi, Aisha Nasaza, Irene Nafuna, Denis Lubega ne Juliet Bisirikira n'abalala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti ezimu ku mmotoka ezikoseddwa, kuliko takisi nnamba UBP 359W, UAW 042E, UAW 398L, ne ppikippiki nnamba UFL 976T, UFN 916P, UEU 698W, UDK 495B, UDZ 777A n'endala.

Agasseeko nti Fuso eremereddwa okusiba kwe kuyingirira abantu n'ebidduka byabwe.