OLWALEERO abalamuzi b’empaka za kkwaaya ezisinga okuyimba ennyimba z’Abajulizi lwe bagenda kusunsulamu ezo omukaaga ezigenda okwetaba ku z’akamalirizo.
Empaka zaakamalirizo eza National Martyrs’ Choral Festival 2025, zaakubeera ku Kampala Serena Hotel nga May 31, era nga ze z’omulundi ogwokubiri.
Empaka zino ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group n’ekigendererwa ky’okujjukira
Abajulizi ba Uganda nga bayita mu kuyimba, okuzannya ne katemba abaazeetabyemu beekutte obutambi bwa vidiyo bwe baaweerezza.
Abalamuzi b’empaka baasisinkanye ne balondamu kkwaaya 40 ezisinga okukoloobya nga ennyonza. Kuno oluvannyuma kwe baasunsudde ezisukkulumye 14 nga kuliko eza Bakristayo n’Abakatoliki.
Eza Bakristayo kuliko; Martyrs Church Choir, Katwe, Namirembe Diocese (Central), Rwenzori Diocese Kampala Fellowship Choir RDKFC), Kabarole (Western),
Morning Glory Choir, St. Apollo Kivebulaya, Nkumba (Central), Christ Church Choir, Gulu Diocese (Northern), Seeta Parish Choir, Mukono Diocese (Central), Gospel
Elite Crescendo Choir International, Kiwuunya COU, Kampala (Central) ne Shepherd’s Choir, St. Augustine, Barogole, Lira Diocese (North).
Kkwaaya za Bakatoliki; Our Lady Seat of Wisdom SS Choir, Kasawo, Lugazi Diocese (Central), Echoes of Mercy Choir, Holy Cross, Jinja Diocese (Eastern), All Saints Choir,
Christ the King Parish, Arua Diocese (West Nile), St. Joseph’s Choir, Holy Trinity, Kamwokya, Kampala Diocese (Central), St. Charles Lwanga Lubaga Cathedral Choir, Kampala Arch Diocese (Central), St. Jude Choir, Wakiso, Kampala Archdiocese (Central) ne Divine Mercy Catholic Choir, St. Mary’s Kagadi, Hoima Diocese (Western).
Abalamuzi baalagidde kkwaaya ezo waggulu 14 okwekwata obutambi obulala kwe bajja okusinziira okulonda omukaaga ezisinze mu wanga okuli eza Bakristayo ssatu n’eza Bakatuliki ssatu. Omuwanguzi w’empaka waakwewangulira obukadde 36 ku mukolo ggaggadde ogw’okubeerawo nga May 31, 2025 era nga baakujja n’abawagizi baabwe. Guno gugenda kuba mulundi gwakubiri nga kampuni ya Vision Group etegeka
empaka z’ekika kino. Abalamuzi b’empaka zino balina obumanyirivu okuli; Lydia Namatovu, Rachael Ayikoru, Mayambala Kizito ne munnamawulire wa Vision Group, Joseph Batte