Abazibu banyaze owa mobile money ne batta n'omutuuze

POLIISI etandise okunoonyereza ku bazigu ab’emmundu  abalumbye owa Mobile money ne bamunyagulula wakati mukuwandagaza amasasi agasse omutuuze n’okulumya omukinjagi.

Akubiddwa abazigu amasasi
NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI etandise okunoonyereza ku bazigu ab’emmundu  abalumbye owa Mobile money ne bamunyagulula wakati mukuwandagaza amasasi agasse omutuuze n’okulumya omukinjagi.
 
Obulumbaganyi buno bwabadde mu Kabuga ke Kasenge mu Kyengera Town Coucil mu disitulikiti eye Wakiso ku Mmande akawungeezi nga kigambibwa nti abazigu abaabadde bambadde obukololo basoose kukyankalaanya masannyalaze ne gavaako ne kyadiridde kw’abadde ku wandagaaza byasi mu bantu ng abwe bolekera edduuka lya Mosese Kiggundu Agenti wa Centenary bank nebakuba amasasi mu kawunta nga bwe mulagira okuwaayo ssente.
 
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’eriraano Patrick Onyango yakakasizza ettemu lino n'ategeeza ng’omuyiggo gw’abatemu bwe gwatandikiddewo.
 
Kiggundu ategeezezza nti bino byabaddewo wakati w’essaawa emu n’ekitundu n’ebbiri ez’ekiro ng’abasajja babiri yabekangidde mu dduuka mwee yabadde n’omuwala amuyambako babatunuzamu emmundu.
 
Abazigu baabadde n’ekissaawo mwe bapakidde ssente,amasiimu n’obuwumu obukozesebwa mu kubaala ssente.
Kiggundu agambye nti guno mulundi gwa kubiri ng’alumbibwa abazigu b’emmundu ne bamunyagulula.
Omuntu ng'alaga ababbi webababbye owa Mobile Money

Omuntu ng'alaga ababbi webababbye owa Mobile Money

 
Fred Mukiibi omutuuze mu kitundu kino ategeezezza nti obulumbaganyi buno bwakoleddwa wakati weddakika 5 ku 10 era abazigu olwamaze okufuna omunyago bagenze bawandagaaza amasasi mu bantu naddala bebaabadde balowooza nti babawondera nga gano gakwatiddemu omukinjagi Semeo Kagubire ne Kizito Wasswa.
 
Kizito Wasswa omutuuze we Nakirama ye amasasi gamukubiddwa mu lubuto ne gamuyiwa ebyenda nafiirawo nga kigambibwa nti ono yabadde agezaako okubawondera ate Kagubire bamukubye amasasi mu bisambi.
 
Kagubire asangiddwa mu ddwaaliro lya Doctor’s Hub e Kasenge ng’apooca n’ebiwundu yategeezezza nti bamukubye amasasi ana mu bisambi nga gano gamusanze atuidde ku katebe ku bukya ye nagwa wansi webamuyoode okumuddusa mu ddwaaliro.
 
Ono kati ayagala ebitongole by’okwerinda okuvaayo bimuddukirire olw’obuvune obwamutuuusiddwako abazigu b’emmundu ezirina okubeera mu mikono gyabwe.
 
Rose Natukundu mukyala wa Wasswa ategeezezza nti amawulire gw’okutiibwa kwa gamusanze akyali mu mulimu nga yagenze okutuuka e Kasenga nga yafudde dda.
 
Mark Nsubuga omusawo ku ddwaaliro lya Doctor’s Hub agambye nti Kagubire basobodde okumulongoosa ne bamujjamu obubapajjo bwa masasi kyokka amagumba g’ebisambi byombi gakoseddwa nnyo nga yetaaga obujjanjabi obwamaanyi.
 
Mmeeya wa Kyengera Town council Sir Mathias Walukagga avumiridde etemu lino nakubirizza abantu abalina bizinensi enene okufuna abakuumi bw’obwananyini kubanga poliisi tesobola ku beera mu buli kifo.
 
Akyomedde ebitongole by’okwerinda olw’okulemwa okufuga emmundu abatemu ne bazikozesa okutta n’okunyagulula abantu n’ab’ekitongole kya UDCL abalemeddwa okutereza amasannyalaze kyagamba nti kiwadde abamenyi bamateeka okukola obulumbaganyi ku bantu munzikiza.