AMAGGYE ne poliisi basazeeko ekyalo mu kiro oluvannyuma lw'okufuna amawulire nti waliwo akabinja k'abavubuka abakolerako bbomu enkolelere.
Ekikwekweto kino kyakulembeddwa DPC wa Wakiso Esther Kizza ssaako aduumira ebikwekweti mu CMI Ephraim Byaruhanga nebambega b'ebyokwerinda abalala.
Ekyalo amagye ne poliisi baakisalako ku Lwokutaano ssaawa 4;00 ez'ekiro era amagye negetoloola kunsalo salo z'ekyalo, olwo aba poliisi abataabadde mubyambalo nebatalaaga obubuga obulilanyewo.
Ekyalo Gimbo mu muluka gwa Lukwanga e Wakiso kye kyabadde kubunkenke, abatuuze bwe baabalagidde okufuluma amayumba gaabwe olwo nebatandika okugaaza.
Kino kyakoleddwa okulaba oba bayinza okubaako bye basanga mu mayumba ebyefananyiriza bbomu, ekintu ekyaareese akasattiro ak'amaanyi n'obunkenke kukyalo.
Ekikwekweto kino tekyatalizza na nnyumba ya Mansoor Kalule eyetulisizaako bbomu mu Kampala, era a,agye gaagyetolodde buli kasonda okulaba nga tewali agezaako kugifulumamu.

Abasirikale ng beekebejja ekifo
Nga batuuse ku nnyumba ya Kalule, poliisi ezikiriza bbomu yeyakoze omulimu gw'okwaza nga yeyemabisa nembwa zaayo erfa bano baamazeeyo eddakiika 30 nga bekebejja buli kanyomero.
Bano baategezza nti balina ebintu bye baalabyeyo kyokka nga tebaabyogedde, era nebetageeza nti bino byalaze nga waliwo abasulawo era balina misoni zebakolerawo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesgyire yategezezza nti baasazeeko amaka mukiro kyokka oluvannyuma lw'okugaaza tebalina muntu yenna kye baasanzeemu.
"Eyatuwadde amawulire yabadde mukakafu nnyo nti bi bbomu ebikolelere era naffe kyova olaba nti twasitukiddemu. Tugenda kunonyereza okulaba oba abasulamu baatambudde nabyo." Owoyesigyire bweyayongeddeko.
Yagambye nti okumanya nannyini nnyumba, kigenda kubayambako okunoonya akabinja kano, okulaba nga buli kasonda gye bakolera misoni zaabwe bafeffettayo.
Owoyesigyire yagambye nti ennyumba bagenda kusigala nga bagikumirako amaaso, nga yenna gwe banaalaba agyesogga bagenda kumukwata olwo okunonyereza kweyongere mumaaso.
Ye ssentebe w'ekyalo Gimbo, Aaron Ndyanabo yagambye nti embeera ya bunkenke mukitundu kye, nti kyokka agenda kufuna enkiiko ez'enjawulo n'abatuuze balabe eky'okuzaako.
Yagambye nti embeera y'obutujju bwejja mukitundu, tebagitwala nga yakusaaga, era nti agenda kwongera okukubiriza abatuuze okuloopa nga mubwangu abantu bebatamanyi ku kakiiko k'ebyalo oba poliisi.
"Bangi bajja kukyalo kyaffe naye baliranwa nebatafaayo kwogera eri bakulembeze, kyokka ekiseera kiyitawo ate nebakola ebikolobero oluusi ebivaamu okutwala obulamu bwaffe." Ndyanabo bweyayongeddeko