Ab'oludda oluwabula Gv't balidde ebigmbo byabwe

AB’OLUDDA oluwabula gavumenti mu palamenti balidde ebigambo byabwe mwebategereeza nti sibakwekandaga okufuluma olutuula lwa palamenti leero, palamenti bwenebeera yekennaenya ennongoosereza mu tteeka lya UPDF wamu n’etteeka erirungamya ebibiina by’obufuzi erya Political parties and organisations amendment bill 2025

Ssennyonyi ng'ayogera
NewVision Reporter
@NewVision

AB’OLUDDA oluwabula gavumenti mu palamenti balidde ebigambo byabwe mwebategereeza nti sibakwekandaga okufuluma olutuula lwa palamenti leero, palamenti bwenebeera yekennaenya ennongoosereza mu tteeka lya UPDF wamu n’etteeka erirungamya ebibiina by’obufuzi erya Political parties and organisations amendment bill 2025

Olunnaku lw’eggulo akulira oludda oluwabula gavumenti Joel Ssenyonyi mu lukungaana lwa bannamawulire yategezeeza nti wadde waliwo abantu ababadde basaba baleme kwetaba mu lutuula olw’okuyisa ennoongosereza mu mateeka gombi naye bakirabye nga kyetagisa okwetaba mu lutuula luno okuwakanya ebyo byebatakanya nabyo.

Ssenyonyi olutuula lwa leero bwerutandise atandise nakulaga butali bumativu eri akakiiko kawamu akatekebwawo okwekenenya ennoongoosereza mu tteeka lya UPDF obutakiriza buli muntu alina ebirowoozo ku nnoongoosereza mu teeka lino okuzireeta wadde nga sipiika yabasubiiza abantu bagya kuwebwa obudde obumala.

Sipiika wa palamenti Anita Among wabula ategeezezza nti ennoongoosereza yazisindika mu kakiiko nga ke kamanyi lwaki abantu abamu tebayitiddwa nayita katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja okutaganza ku nsonga eno.

Nabbanja ategeezezza nti okuva lweyalondebwa yabategezeeza nti yakyusa engeri gavumenti gyekolamu emirimu nagamba nti Ssenyonyi yandibadde amuyozayoza olwo bukugu obukoseddwa mu kukola emirimu.

Kino wabula kitabudde Ssenyonyi ategeezza nti Nabbanja siyakulira akakiiko ka mateeka nga tamanyi lwaki ayanukula byatamanyi ekiretedde sipiika Among okuyita ssentebe wa kakiiko ka palamenti ake bya mateeka Stephen Baka okutangaza ku nsonga eno nga ono ategezeeza nti tebalina teeka lyebamenya okwekenenya ennoongoosereza zino mu budde obutono.

Ssenyonyi tamatidde n'asigala nga yemulugunya olwe kibiina kye ekya NUP obutawebwa mukisa okuwa birowoozo ku nnoongoosereza mu teeka lya UPDF era nategezeeza nga bwetasoboola kwetaba mukuyisa ebintu ebimenya amateeka bwatyo nafuluma palamenti.

Ono olufulumye palamenti nababaka ku ludda oluwabula gavumenti nebamugoberera nga ogyeko omubaka wa munisipali eye Njeru Jimmy Lwanga nomubaka owa Erute south Jonathan Odur, Gilbert Olanya nabamu ku babaka ba FDC.

Omubaka akikirira abakyala mu kibuga Masaka Juliet Kakande wabula kino takiwagidde nategezeeza nga bwekibadde kitetagisa ababaka ku ludda oluwabula gavumenti okufuluma olutuula lwa leero.