Eyaweebwa kontulakiti y'okuzimba ekyuma ekikola 'Steel' ali ku gwakufuna byamaguzi mu lukujjukujju

Adam Twaha Kyeyune y’attunka n'omusango gw'okufuna amabaati mu lukujjukujju 

Eyaweebwa kontulakiti y'okuzimba ekyuma ekikola 'Steel' ali ku gwakufuna byamaguzi mu lukujjukujju
By Paul Galiwango
Journalists @New Vision
#Rubanda #Byuma #Steel #Kontulakiti #Kuzimba #William Street

AKULIRA kkampuni ya Steam Investment Ltd eyaweebwa omulimu gw'okuzimba ekyuma ekikola ebyuma bya Steel mu disitulikiti y’e Rubanda awerennemba na gwakufuna byamaguzi mu lukujjukujju.

Kyeyune Mu Kaguli Ka Kkooti.

Kyeyune Mu Kaguli Ka Kkooti.

Adam Twaha Kyeyune y’attunka n'omusango gw'okufuna amabaati mu lukujjukujju era nga okusinziira ku ludda oluwaabi, nga June 17, 2023 ku luguudo lwa William Street mu Kampala, yafuna amabaati agabalirirwamu ssente 410,569,500 okuva ku Dincon Karokora ng’amusuubizza okumusasula ky'ataakola.

Kyeyune omusango yagwegaana bwe yasimbibwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Winnie Nankya Jatiko nga  January 17 era kkooti n'emuyimbulwa ku kakalu kayo ku bukadde 20 ezitaali za buliwo n'abaamweyimirira basatu obukadde 150 buli omu ezitaali za buliwo.

Kyeyune yazzeemu okweyanjula mu kkooti okutandika okuwulira obujulizi ku musango ogumuvunaanibwa wabula yategeezezza kkooti nga looya we bw'ataliiwo n'asaba kkooti okumuwaayo obudde omusango okuwulirwa nga looya we waali.

Omulamuzi Nankya yagwongezzaayo okutuusa nga March 13 lwe banaatandika okuwulira obujulizi ku musango ogumuvunaanibwa.

Bukedde yategeddeko nti Kyeyune alina ffayiro z’emisango endala bbiri ezikyali ku poliisi ku misango gye gimu okuva eri abantu ab’enjawulo ezirindiridde okumusomerwa nga zino ssinga zigattibwa ku eri mu kkooti, omugatte gwa ssente ezimubanjibwa ziba zaakusoba mu kawumbi.