PALAMENTI ya Uganda yayisa obuwumbi 977 n’obukadde 700 okukola emirimu gyayo mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwa 2024/2025 oguggwaako mu July.
Ssente ezimu zikozesebwa okugulira ababaka emmotoka, okugulira abakungu ebyambalo, okugula ekyemisana, okusasulira obujanjabi, okusasula entambula y’ababaka nga baddayo mu konsitityuwensi nga ne bwe baba bafudde era basasanyizibwako buwanana.
Ensako eziweebwa ababaka zisalibwawo olukiiko lwa Parliamentary Commission olukubirizibwa Sipiika Anita Among. Bammemba ku lukiiko kuliko; omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, Katikkiro wa Uganda Robina Nabbanja, akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi, minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija.
Bakamisona bana okuli; Solomon Silwany (Bukooli Central), Esther Afoyochan (mukazi/Zombo), Prossy Mbabazi Akampurira (mukazi/Rubanda), Mathias Mpuuga (Nyendo-Mukungwe) n’omuwandiisi wa kakiiko era nga ye muwandiisi omukulu owa Palamenti, Adolf Mwesige.
Omubaka aweebwa obukadde 200 okugulamu emmotoka gyalina okutambuliramu okukola emirimu.
Buli mwezi Palamenti esaasanyiza ku mubaka obukadde obusukka 40 ezimuyamba okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe.
Buli mwezi omubaka asasulwa obukadde 11 n’emitwalo 68 ng’omusaala, kyokka bwe baziggyako omusolo asigaza 6,129,000.
Ssente z’entambula ezitwala omubaka mu konsitityuwensi ziri 4,500,000 ku mubaka we Kampala. Kyokka zigenda zirinnya okusinziira ku buwanvu bw’olugendo lwa konsitityuwennsi okuva ku Palamenti era mulimu ababaka abafuna obukadde 10 omwezi.
Waliwo ssente z’ebyokulya okuli ekyenkya, ekyemisana bya 4,500,000/-. Buli lutuula lw’akakiiko omubaka asasulwa 50,000/-. Ssente z’okusula ziri 4,000,000/-buli mwezi.
Ssente ezigenda mu kittavvu ky’abakozi ekya NSSF-9,000,000/- buli mwezi. Omubaka bamusalako 3,000,000/- olwo Palamenti n’emwongererako 6,000,000/- n’endala.
Omubaka bwagenda ebweru w’eggwanga ku mirimu emitongole buli lunaku asasulwa doola za America 720 eza Uganda 2,500,000/- ate bwe batambula mu ggwanga nga balambula emirimu egikolebwa buli lunaku basasulwa 400,000