POLIISI erangiridde nti, ya kugenda mu maaso ng’ekwata bammemba ba NUP abaalabikira ku mitimbagano nga beenyigidde mu paleedi emenya amateeka.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti, okukwata aba NUP kiddiridde poliisi okubafunako obujulizi nti, beenyigira mu paleedi y’ekijaasi bwe baali ku ofiisi z’ekibiina e Makerere -Kavule ekimenya amateeka.
Rusoke yagambye nti, kimenya mateeka okwenyigira mu kutendekebwa eby’ekijaasi ng’abamu ku bammemba ba NUP bwe baakola era nga wano poliisi we yasinzidde okukola ebikwekweto okukwata 10 nga bw’ekyanoonya abalala abali ku lukalala lwayo.
Yagambye nti, mu kiseera kino poliisi yaakakwata bammemba ba NUP 10 nga eyaakasembayo okukwatibwa ye Doreen Kaija nga yakulira ebbanguliro lya NUP era nga yasunsuddwa okuvuganya ku bwa Loodi kansala wa Nakawa East ku lukiiko lwa KCCA.
Yagambye nti, waakutwalibwa mu kkooti e Kanyanya avunaanibwe ng’abalala abaasooka okukwatibwa okwali; Waiswa Mufumbiro, Calvins Tasu amanyiddwa nga Bobi Giant, Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe, Achileo Kivumbi, Edwin Sserunkuua amanyiddwa nga Eddie King Kabejja, Sharif Lukenge, Yasin Nyanzi, Tony Kaweesi ne Sauda Madada