Museveni akubye ab’e Luweero enkata

PULEZIDENTI Museveni akubye abasuubuzi abakolera mu katale akali ku kkubo e Luweero enkatta ya bukadde 640.

Abamu ku bakyala b’omu katale ku kkono e Luweero abaaweereddwa ssente okwekulaakulanya.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni akubye abasuubuzi abakolera mu katale akali ku kkubo e Luweero enkatta ya bukadde 640.
Ssente zino zigabanyiziddwa mu basuubuzi 640 nga buli musuubuzi afunye 100,000/- ez’okwekulaakulanya.
Enkata eno, Pulezidenti yagitisse abakungu mu ofiisi ye abaakulembeddwa omuwabuzi we avunaanyizibwa ku nsonga z’abakadde, omumbejja Pauline Nassolo.
Nassolo yasabye abasuubuzi abakolera mu katale ka Balikyejjusa Market okujjumbira amagezi agazze gabaweebwa Pulezidenti omuli okwenyigira mu by’obulimi obulina ekigendererwa ky’okufuna ssente, ebyamakolero, obuweereza n’emirimu gya tekinologiya n’ebyempuliziganya.
Abasuubuzi abaaweereddwa 100,000/- buli omu abasinga batunda birime, okwakya gonja, okwokya ennyama n’okutunda ebibala.
Omumbejja yategeezezza nti Pulezidenti yafuna lipooti ng’abasuubuzi abasinga bwe baali tebaganyulwanga mu nkola ya PDM ne Emyooga, era n’asalawo okubawa ssente enkalu bongere mu bizinensi nga bwe balinda okuganyulwa mu nkola z’okwekulaakulanya endala.
Yabasabye okuteeka abakulembeze baabwe ku nninga basobole okubatuusaako obuweereza bwa Gavumenti.
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’abakyala, Flora Kabibi yawabudde abasuubuzi baleme kutabiikiriza byabufuzi mu nsonga za nkulaakulana.
Ssentebe w’akatale ka Balikyejjusa Market, Yakub Nyombi Zziwa era akulira olukiiko lwa bakozi olwa disitulikiti ye Luweero yasiimye obuyambi. Abasuubuziabalala okuli; Ali Musisi ne Sylivia Nakibuule nabo baakakasizza nti oluvannyuma lw’okuganyulwa mu Museveni obutereevu nabo tebalina kyakumukolera okuggyako okumulonda mu 2026.