MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja ategeezezza nti enkola ey’okukozesa tekinologiya okuwandiisa, okukuuma, n’okutereka ebikwata ku ttaka, etandise okuvaamu ebibala. Alaze n’enkola Gavumenti mwe yayise okugabira ab’e Kayunga ettaka. Bino Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma buli Ssande, okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi okutuusa ku 2:30 ez’ekiro. Pulogulaamu ekubirizibwa TERAH KAAYA, ate bye yayogedde biwandiikiddwa WILSON W. SSEMMANDA:
Ekibuuzo: Sisitiimu ya minisitule y’ebyettaka eno eneetaasa etya mu kumalawo okukola ebyapa ebisukka mu kimu ku ttaka lye limu?
Minisita Mayanja: Kaakati enkola eri ebaddewo gy’oyinza okuyita ‘Manual’, ebaddemu obuvuyo. Oluusi nga fayiro esobola okubula oba ne wabaawo agibuzaawo
mu bugenderevu, ne mutuuka okugikebera nga temugiraba, omuntu n’abonaabona ku ttaka lye bulijjo erimanyiddwa nti lirye.
Naye kaakati mu nkola eno empya eya tekinologiya, oli bw’ayingizaamu ekyapa ekirala ate nga mulimu ekyasooka, ekugambirawo nti tekisoboka kubanga waliwo ekyapa ekirala.
Ate enkola eno tekoma awo, eroopa n’oyo abadde agezaako okucupula ekyapa olwo abakugu baffe abagiddukanya ne batutegeeza ne tulaba bwe tuyamba nnannyini kyapa ekyo omubbi ky’aba ayagala okuyingirira.
Mu sisitiimu yaffe mulimu ba Physical Planner, categrapher, valuer, Registrar n’abalala bonna nga buli muntu ayingizaamu ekikye bwe kituuka ku kukola ebyo ebikola ekyapa ky’omuntu era sisitiimu eraga buli omu ky’aba ayingizzaamu.
Olw’enkola eyo ekyapa ekiyise mu makubo amatuufu kitwala akadde katono ddala okufuluma, so si ng’enkola ebaddewo ng’ebyapa bya kusimbira kaggo.
Ekibuuzo: Emirundi mingi tuwulidde okwemulugunya ku ba ‘Land Registrar’ nga kigambibwa nti nabo bavaako emivuyo mu kucanga ebyapa. Munaakyewala mutya ku
nkola gye mwataddewo okuyamba Bannayuganda ababeera ebweru?
Minisita Mayanja: Okumanya ofiisi eno egenda kubaaamu obwegendereza bwa maanyi, twasazeewo na kugiteeka wano mu ‘Land Information System’ egenda kubaamu obukugu obw’amaanyi era y’esoose mu Africa.
Sisitiimu eno egenda kuba n’enkola eyitibwa ‘self auditing’, nti bwe kiba ng’omukozi, katugambe, Sam Mayanja y’abadde mu ofiisi, sisitiimu eno eba ejja kukiraga enkya. Nti bwe yabaddeewo yayingizzaamu kino na kino era bwe binaabanga ebikyamu, omukozi oyo tuba tujja kumuyimiriza, tumuvunaane oboolyawo n’okumugoba.
Ekirala sisitiimu eyo yennyini ekolera wamu ne ‘Portal’ eriwo era byonna ebiri mu portal ebaddewo ne sisitiimu eri ebirina. Kati oli bw’akuba essimu ng’asinzidde
New York, ng’abuuza ku kyapa kye, sisitiimu eno ereeta obubaka bwe ne ky’ayagala okukebera olwo ne URA n’emutegeeza nti ky’osabye okukukolerako olina okukisasulira ka tugambe doola bbiri (2), bwe zisasulwa olwo by’ayagala okumanya
ne bimuweebwa.
Kale nno abakola ku ‘Desk’ eno tebagenda kuba bantu ba bulijjo, wabula tugenda kufuna abantu abakugu, aboobuvunaanyizibwa era abayinza okuyitibwa okunnyonnyola ssinga wabaawo ekigenze obubi.
Njagala okukakasa bannaffe abo nti ensonga zaabwe zonna ziri mulaala, sisitiimu eno yazze kuyamba bo.
Ekibuuzo: Wiiki eno minisitule y’ettaka yazzeemu okugabira abantu b’e Kayunga ebyapa, kitegeeza ki ku Gavumenti w’etuuse mu kugonjoola emivuyo gy’ettaka?
Minisita Mayanja: Bw’otunuulira ebigendererwa bya Gavumenti, kwe kulaba nga buli
Munnayuganda abeera n’obukuumi ku ttaka kw’atudde olubeerera, awatali amugobaganya.
Njagala okukutegeeza nti obuzibu obuliwo bwatandika mu 1900, abantu abamu (abatono) mwe baafunira ate abalala (abasinga obungi) ne batafuna.
Kyokka etteeka lino eririwo kati ensibuko yaalyo yava mu 1928 eriraga obwannannyini obw’emirundi ebiri nga kuliko oweekyapa n’oweekibanja nga lirambika ow'ekyapa w’akoma nti si ye kamalabyonna.
Etteeka eryo Amin lye yali aggyeewo mu 1975 bwe yalangirira nti ettaka lya Uganda lyonna liri mu mikono gya Gavumenti.
Kyokka era nze mu ndaba eyange, ndaba ng’etteeka lino lye tulina kati teririna nnyo njawulo na lya Amin, wabula lino eririwo lyayongera kuleetawo kutabulwatabulwa
n’okutumbula obubbi bw’ettaka.
Kaakati eky’e Kayunga kyesanga nga waliwo abeebyapa batono nga balina ettaka ddene ddala, nga ku ttaka eryo kuliko abeebibanja bangi. Era ekyaddirira kye kibaddewo eky’oweekyapa okulangirira nti abagoba oba n’aguza omuntu omulala
ajja ng’agobawo abeebibanja.
Gavumenti kwe kukiyingiramu, n’egula ebitundu by’ettaka eryo eririko enkaayana, n’ekola ebyapa by’abo ababaddeko nga abeebibanja.