Gavumenti by’ekoze okukuuma ettaka lya bankubakyeyo

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja ‘anyumizza olutabaalo’ mwe yasisinkanidde Bannayuganda ababeera mu America, ebizibu byabwe ku byettakane Gavumenti bw’etegese okubayamba.

Dr. Mayanja mu situdiyo ya Bukedde Fa Ma..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Gavumenti #by’ekoze #okukuuma #ettaka

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja ‘anyumizza olutabaalo’ mwe yasisinkanidde Bannayuganda ababeera mu America, ebizibu byabwe ku byettaka
ne Gavumenti bw’etegese okubayamba.

Bino Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ku Bukedde Fa Ma ku Ssande, okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi okutuusa ku 2:30 ez’ekiro bwe yakyaziddwa TERAH KAAYA. Omusasi waffe WILSON W.SSEMMANDA akuleetedde ebyabadde ku leediyo:

EKIBUUZO: Minisita obadde mu America, tubuulire ku bye waggyeeyo?

Ssebo weebale nnyo, nnabadde mu lugendo olwatutte essaawa 17 nga ntudde mu nnyonyi okutuuka gye nnabadde ndaze, kyokka nnatuuseeyo, ne nkola emirimu gya mukama wange Pulezidenti gye yantuma.

EKIBUUZO: Bannayuganda be wasanzeeyo baakubuulidde ku bizibu bye balina ku ttaka?

Ndowooza ekyo kye bagamba nti, ‘nyumya olutabaalo’, mu lugendo lwaffe olwo mwabaddemu ebirungi n’ebibi. Omanyi Bannayuganda ababeera mu Diaspora bangi, tuwezaayo abantu abasoba mu 1,000,000 abali mu mawanga ag’enjawulo.

Kye nnazudde, Bannayuganda bangi baava eno nga tebalina bukugu wadde omulimu
ogw’obutendeke gwe balina, naye baatuuka eyo ne bakola era kati bagagga.

Abamu bali mu magye ga America, era kwaliko abanene mu magye ga America abajja
okuyingiza bannaabwe mu magye.

Bwe nzijukira obulungi omwami omu eyali alina ccepe z’amagye ye Luet. Ssemakula, nti azaalibwa Mpereerwe wano, naye ali eyo munene mu magye ga America.

Bannamagye bano baategeezezza nti baaniriza Munnayuganda yenna ali wakati w’emyaka 17- 41. Ate nga bakukolera ne ku ky’obutuuze, nti kye wandikoleddeko
emyaka etaano (5) okufunayo obutuuze, bo bakuyambako n’obufuna mu myezi etaano.

Ono yatugambye nti n’omusaala mulungi, nga mwe muli n’okukuwa ennyumba, okukola ku byobulamu byo, ebyokulya n’ebirala.

Ekirala kye nnazudde, baatunnyonnyodde nti bannassaayansi ba wano obukugu bwe
bafuna bulungi nnyo, era bwe batuuka mu America ne babawa ‘test’ bazikubira
waggulu, wabula obuzibu kwe kuyiga okukozesa amagezi ge bayiga okuvumbula.

Kale nno, ebyo n’ebirala bingi twabirabye, naye kati ka nzire ku mulamwa omukulu ogw’ettaka.

ETTAKA
Natuuse okugenda mu America nga bannangirira dda mu wiiki nga bbiri, nti omusajja ow’ettaka, atatya biduduma, nnaamwatulira ajja. Naye nnasanga beetegefu
okumpuliriza n’okumbuulira ebizibu byabwe ne tumala essaawa nnya (4) nga twogera ku nsonga za ttaka.

Ekisinga okuluma Bannayuganda abali ebweru, bwe bukuumi ku ttaka lyabwe. Ettaka lyabwe balibba, era abamu nga bannyonnyola ensonga eno baakaabye n’amaziga!

Bakazibattu ne basajja battu bakazana ne bakuhhaanya obusente bwabwe ne bagula kuno ettaka, nga beesize abenganda n’emikwano kyokka ne bababba.

Waliwo abannyonnyodde nti babeera eyo nga baweereza ssente ez’okuzimba, nga babaweereza n’ebifaananyi eby’ennyumba w’etuuse, nga bali bongera ssente,
okutuuka eno nga ennyumba teziriiyo oba si ekyo nga baazezza ne bazeefuga.

Waliwo n’omukyala eyagambye nti yazimba enju ye, naye owooluganda yagyefuga n’amugamba nti olulinnya e Uganda ajja kumukuba amasasi bamutte! Naye ekirungi nnabadde ngenze n’abakugu nga abamu ku bo be b’ebyokwerinda, era omukugu yasituse n’abagumya nti Uganda esobola okubawa obukuumi obumala era tewali alina kubatiisatiisa.

NNABAGUMIZZA KU NKOLA Y’EBYETTAKA EYA LAND INFORMATION SYSTEM
Mu byonna nnayanjulidde abantu baffe abo enkola yaffe empya eya Land Information System.

Enkola eno Pulezidenti Museveni ye yagitandika okukuuma ebikwata ku ttaka byonna mu sisitiimu eri ku nkola eya digito.

Kino era kiyamba n’okumalawo ebintu nga okukola ekyapa ekirala ku kyapa ekikadde, ne mubeera n’ebyapa ebisukka mu kimu ku ttala lye limu.

Kino tekikyasoboka, kubanga ekyapa ekipya kibeerako ebintu eby’enjawulo okuli n’akantu akaaka nga aka ssente, n’obulambe obulala obuliko ennamba etafaanana
ndala.

Kuliko n’ennamba ya densite yo, era kuliko n’ennamba y’essimu yo era bwe wabaawo yenna akitigiinya, sisitiimu ekuwa obubaka n’omanya nti waliwo alina ky’akikolako, ggwe osinziira ku ssimu yo n’okiyimiriza.