MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja alambuludde ku kaviyeeti n’ekirina okukolebwa ssinga abakozi ba Gavumenti beekobaana n’ababbi ne baggya kaviyeeti ku ttaka ng’eyagissaako takkirizza.
Bano abayise babbi abasaana n’okugobwa mu buweereza bwa Gavumenti ebyettaka bwe binaaba eby’okutereera. Bino Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma buli Ssande, okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi okutuusa ku 2:30 ez’ekiro, mw’atangaaliza eggwanga ku nsonga z’ebyettaka.
Ekibuuzo: Abakola mu ggwandiisizo ly’ebyapa (Registry) bamanyi okuggya kaviyeeti (envumbo) eziba zaateekebwa ku byapa, buzibu ki obukirimu?
Minisita Mayanja: Ssebo, obwo buba bubbi bwennyini, era libeera kkobaane. Kubanga omuntu w’agendera n’asaba okuteeka kaviyeeti ku kyapa abeera n’ensonga. Etteeka ligamba nti omuntu ateeka envumbo ku kyapa abeera n’ezimu ku nsonga zino wammanga;
Osobola okuba ng’oguze ettaka eryo naye nga tebannaba kulikyusa kulizza mu mannya go. Envumbo gy’oteekako ebeera nti tokyusa kintu kino, okuggyako ng’ombuulidde kubanga nakigula naye okukyusa tekunnaggwa.
Omulala n’agamba nti alina ensonga ku ttaka, ka tugeze nti yalifuna mu makubo agatali matuufu era nnamuwawaabira omusango guno ogugenda mu maaso mu kkooti.
Kaakati, ono ofiisa wa Gavumenti bw’ava eri n’agiggyako ng’eyagissaako tamanyi abeera akoze nsobi, kubanga, aliriko abeera asobola n’okuddamu n’alitunda omulundi ogwokubiri oba ogwokusatu.
Ogenda okudda, ng’ettaka kw’olina ensonga eryali erya ‘Musoke’, envumbo baagiggyako dda, nga liri mu mannya ga ‘Lukwago’! Ekyo kibi nnyo kubanga kivaamu njawukana ku ttaka na mivuyo, Gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy’ezze erwanyisa okumala ebbanga.
N’omuntu abeera yassaako envumbo ng’ettaka alirinako omusango abeera n’essuubi nti ng’omusango aguwangudde, ekintu kiba kya kukyusibwa kidde mu mannya ge.
Ekyo kyakabi nnyo era kye kimu ku byali birowoozebwa nti kyali kya kukoma nga Gavumenti etaddewo enkola y’okulondoola ebikwata ku ttaka nga tuyita mu Land Information System.
Ebintu bingi tubitadde ku sisitiimu eno, kyokka waliwo ebitannateekebwayo ng’ababiri mu mitambo balowooza nti enkola gye babaddemu bw’eneevaawo bajja kuba tebakyalina ‘mulyo’.
Ne wiiki ewedde, waliwo abantu abaddukira mu ofiisi yange, nga bagamba nti ku ttaka bassaako envumbo, kyokka baasanze envumbo yaggyibwako nga n’ettaka lyakyusibwa dda! Kubanga ebintu ebisinga mu nkaayana z’ettaka be b’ehhanda abanenehhana, ng’omu baamuwa, ate abalala bamugoba, omulala nga yeefunza n’ebya banne, ate omulala nga yagoba ku kyapa ku lwa banne, ate olwakifuna n’atunda butunzi n’ebirala.
Era waliwo abajja eggulo, ne mpandiikira kaminsona akwatibwako ensonga eyo nga njagala ambuulire kino kyagwawo kitya, okujjulula byonna ebyakolebwa n’ebintu ebirala bingi nnyo. Era njagala kino nkikozese ng’ekyokulabirako, kireme kuddamu kubeerawo mu mulembe gwa Museveni guno oguliko n’ebiragiro by’azze awa. Naye y’emu ku nguzi gye tulwanyisa.
Ekibuuzo: Bwe kiba nti abaggyeeko kaviyeeti bali munda mu ofiisi za Gavumenti, asobola okubawawaabira?
Minisita Mayanja: Bulungi nnyo, kubanga awo aba alina kuwawaabira Commissioner Land Registration, oba Ssaabawolereza wa Gavumenti. Kyokka eky’obulabe kiri nti ne bwe baba basazeewo okubijjulula ne babisazaamu, oyo eyali yabicankalanya ye asigala mu ntebe ye nga n’okwesuuba y’esuuba!.
Kwe kugamba nti wasaana okubaawo amateeka agakyusibwa, era ky’ova olaba nze lumu nnacamuka ne ngoba abaali mu ofiisi y’ettaka ey’e Wakiso bonna!. Kyokka ne bava eri ne bansaba nti ate omukozi wa Gavumenti alina emitendera gy’alina okuyisibwamu ng’agobebwa.
Mbu n’obalabula, oba n’obakyusa ofiisi oba ebifo. Kale nze ndowooza nti amateeka agafuga abakozi ba Gavumenti galina okukyusibwamu, okwewala abakola ebikyamu ne bavumya Gavumenti ate ne basigalawo nga beekwese mu mateeka.
Era bw’osanga abatanyigirwa mu ttooke nga nze, mbagoba, ne bagenda mu kkooti ne tuwoza, n’agenda eyo ng’agamba nti nnamugoba mu bukyamu okutuusa lwe mmuwangula kubanga obujulizi bubeerawo, kye twagala kwe kutuusa obuweereza ku bantu, so si kukweka bali banguzi.
Abamu babazza, naye we baddira nga tutereezezza nga takyayinza kuddamu kukola mivuyo.