Engeri gy’otunda enkoko z’ennyama n’ofuna amagoba

NG’OMAZE okulunda obulungi enkoko zo ne zituuka mu kkiro emu n’ekitundu ku kkiro bbiri mu wiiki 4-5, kikulu okubeera nga weetegese okumanya akatale w’ogenda okuzitunda obutafiirwa.

Abakozi nga basala enkoko z’okutwala ku katale.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NG’OMAZE okulunda obulungi enkoko zo ne zituuka mu kkiro emu n’ekitundu ku kkiro bbiri mu wiiki 4-5, kikulu okubeera nga weetegese okumanya akatale w’ogenda okuzitunda obutafiirwa.
Omulunzi abukola nga bizinensi, kino si kye kiseera eky’okunoonyezaamu akatale kuba ekiseera kino buli lunaku oluyitawo ng’enkoko zino ziri mu nnyumba oziriisa, zibeera zirya ku magoba ge wandibadde ofuna.
Kyokka bangi bakaluubirizibwa okutunda enkoko zaabwe oluvannyuma lw’okussaamu ssente n’ebiseera ne bajulirira okuva ku by’okulunda enkoko.
1 Manya akatale ko : Nga bwe twalaba mu mboozi zaffe ezaasooka, okufuna mu bulunzi bw’enkoko, wandibadde wamanya dda akatale k’olundira enkoko zino era n’olunda okusinziira ku bwetaavu bw’akatale ke wafuna.
Mu ngeri y’emu, oteekeddwa okumanya engeri akatale kano gye keetaagamu enkoko zino naawe osseewo enteekateeka ezikatusaako mu ngeri eyo. Okugeza, singa akatale keetaaga bitundu bya nkoko, gamba waliwo abaagala ebisambi, ebiwaawaatiro, ebifuba era wandibadde ossaawo enteekateeka n’ozibatuusaako nga nsale.
2 Kiki ekikuwa enkizo: Mu kino, beerako n’ekikwawula ku balunzi b’enkoko z’ennyama abalala. Kino wandibadde okikola mu kiseera ky’okulunda ne kiwa enkoko zo obuwoomi, obuzito n’ebiralaokwawukana n’abalala nga okuziriisa emmere etabuddwa obulungi, okuziwa ku muddo n’ebirala. Kino kigenda kusikiriza abaguzi olw’abazirya okuziyaayaanira osobole okutunda mu kiseera ate ku bbeeyi ennungi.
3 Ensiba : Bw’obeera olina obusobozi bw’okusala n’okusiba enkoko zo, kikole mu ngeri esinga okusikiriza amaaso ate nga nnyonjo. Osobola okusiba ebitundu eby’enjawulo byokka olwo ayagala okugula n’abeera ng’agula ekyo ky’ayagala. Ate ggwe azitunda nga nnamu, kuuma ennyumba nga nnyonjo ddala zituuke okutundibwa nga teziriiko kalimbwe n’obucaafu obulala.
4 Omutimbagano: Leero abantu abasinga obungi bali ku mutimbagano okuyita ku mikutu nga WhatsApp, Facebook n’ebirala. Wadde bangi baliko kunoonyako bibasanyusa na kutwaliriza budde, singa osalawo okutundirako enkoko zo, ogenda kwewuunya bakasitoma abagenda okukubira nga baagala okubawa enkoko zo.
5 Okutwalira bakasitoma : Ennaku zino abantu naddala abapangisa mu bikomera baagala nnyo okugula ku bantu abasobola okubatwalira ebyamaguzi mu maka gaabwe. Noolwekyo tandikawo enkola y’okutambuza n’okutuusa enkoko zo ku bakasitoma abaagala kuba akatale kano weekali era kikole mu ngeri y’ekikugu ng’obatuusaako ekyo kye bakusabye ate mu budde era Sigala ng’oyogerezeganya nabo n’okukola ku nsonga ze babadde beemulugunyako oba okukusaba.
6 Bbeeyi: Manya ebbeeyi eri ku eri mu katale era wandibadde otunda ku bbeeyi ya wansi ko abaguzi okukwettanira. Kino osobola okukikola singa obeera nga walunda bulungi n’otofiirwa nkoko, ne zikulira mu budde era nga weetangira endwadde ne zitayongeza nsaasaanya.
Kino kitegeeza nti, singa okendeeza ku bbeeyi ogenda kusigala ng’oggyayo ssente ze wassaamu ate n’okola n’amagoba.
7 Enkolagana n’abalunzi abalala : Wadde nga weetaaga okwegendereza abantu b’okwatagana nabo aten’obutamala gakkiriza bantu kuyingira ku ffaamu yo, tewezimbako lukomera kuba abalunzi abalala basobola okukuyamba okukufunira akatale ate n’okukuwa amagezi g’okulunda obulungi n’okola amagoba.
Weetabe mu misomo, enkiiko z’okukubaganya ebirowoozo, ebibiina by’abalunzi n’ebirala nga kino kikuyamba obutatambulira mu kizikiza n’okukolera awamu n’abalunzi abalala okufuna obutale obunene.
Biwandiikiddwa HERBERT MUSOKE okuva ku Ssaalongo Robert Sserwanga omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo n’abavubuka.