Aba NRM bawera kununula Mukono

AB’EKIBIINA kya NRM balangiridde olutalo sinziggu ku ky’okuzza obuggya obuwagizi bw’ekibiina kino obubadde bwasereba mu kitundu ky’e Mukono ekyavaako n’okuwangulwa mu kalulu aka 2021.

Aba NRM bawera kununula Mukono
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AB’EKIBIINA kya NRM balangiridde olutalo sinziggu ku ky’okuzza obuggya obuwagizi bw’ekibiina kino obubadde bwasereba mu kitundu ky’e Mukono ekyavaako n’okuwangulwa mu kalulu aka 2021.

Baasinzidde mu lukung’aana ggaggadde lwe baakubye ku muzikiti e Kiyunga olwatuumiddwa “Buganda for Museveni” ne bategeeza nti, omulamwa omukulu ogw’enteekateeka eno kwerandiza mu Buganda ne Mukono okutwaliza awamu nga batandikira ku ky’okugonjoola ebizibu omuli; ebbula ly’emirimu, amasannyalaze, amazzi n’ebirala n’ekigendererwa eky’okutuusa empeereza ennungi eri abantu.
Ruth Nankabirwa, nga ye minisita avunaanyizibwa ku by’amasannyalaze n’obuggaga obw’ensibo yategeezezza nga pulezidenti bw’alina enteekateeka eziddaabulula disitulikiti eno mu nkulaakulana ez’enjawulo naddala ku ky’okutumbula ebyobulamu n’ebyenjigiriza, bw’atyo n’abasaba ku mulundi guno okwewala okulondesa ekinyumu wabula basse mu buyinza abo abalina obusobozi okumutuukirira okuggusa ensonga. Yawadde eby’okulabirako eby’enguudo ez’omulembezevYe minisita Harunah Kasolo yakakasizza ku ky’okununula Mukono okugiggyamu abakulembeze abeefaako bokka, nga n’abavubuka babasimbyeko essira ku mulundi guno ku ky’okulwanyisa obwavu. Rosemary Namayanja Nsereko, amyuka Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM ye yasabye abakwatidde ekibiina kino bendera obutava ku mulamwa ate beewale n’entalo wakati waabwe, bakwatagane okuggusa omulamwa gw’enteekateeka eno.
Abamu ku bakwatidde ekibiina kino bendera abaakulembeddwa eyaliko omubaka wa Mukono North, Ronald Kibuule bannyonnyodde nga bwe balina essuubi okuweereza abantu ssinga banaaba babazzizza mu buyinza. Waliwo n’abamu ku babadde abakulembeze okuva mu kibiina kya NUP abaasaze eddiiro ne badda mu kibiina kya NRM ne bajuliza ekibiina mwe babadde okuva ku mulamwa