ENSALA ya kkooti etaputa Ssemateeka ezaalidde Gen. Kale Kayihura ebizibu!
Egguliddewo ekkubo abantu abaatulugunyizibwa mu kiseera we yabeerera omuduumizi wa Poliisi okumuggulako emisango egy’okubatulugunya, okubatyoboola n’okulinnyirira eddembe lyabwe ery’obuntu.
We twogerera bino alindiriddeokuvunaanibwa emisango egigambibwa okusoba mu 30 egyekuusa ku kutulugunya abantu, egyakolebwa Poliisi wakati wa 2005 ne 2018 we yabeerera omuduumizi wa Poliisi.
Kkooti etaputa ssemateeka, mu nsala yaayo, abalamuzi 5: Fredrick Egonda Ntende, Elizabeth Musoke, Christopher Gashirabake, Monica Mugenyi ne Christopher Madrama
awatali kwesalako baasembye Kayihura avunaanibwe emisango gy’okutulugunya abantu, ye ng’omuntu so si gavumenti wadde nga gye yali akolera mu kiseera ekyo.
Abalamuzi bagamba nti gavumenti, terina tteeka oba nkola nnambike ekkiriza abantu okutulugunyizibwa mu ggwanga, era singa weenyigira mu kutulugunya abantu, emisango obeera ogenda kugyetikka wekka, wadde nga obikoze okolera gavumenti. Mu 2018, Kayihura yaggyibwa mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi, n’asikizibwa Martins Okoth Ochola, naye emyaka 12 gye yamala ng’aduumira Poliisi, abantu ab’enjawulo baavangayo ne beemulugunya nga bagamba nti batulugunyizibwa. Ekkomera ly’e Nalufenya erisangibwa e Jinja, kye kimu ku bifo ebyanokolwayo abantu gye baasinga okutulugunyizibwa ku mulembe gwa Kayihura.
ENSALA YA KKOOTI
Abawagizi ba Dr. Kiiza Besigye okuli; Joseph Kaddu, Andrew Ssebitosi, Rogers Ddiba n’abavuzi ba bodaboda abalala baggula omusango ku Kayihura n’abaserikale abalala musanvu okuli Andrew Kaggwa eyali aduumira Poliisi mu kitundu kya Kampala East, eyali akulira ebikwekweto mu Kampala n’emiriraano James Ruhweza, eyali aduumira Poliisi ekkakkanya obujagalalo Samuel Bamuziibire, eyali aduumira Poliisi ekkakkanya obujagalalo mu Kampala South Patrick Muhumuza, eyali omuduumizi wa Poliisi mu Kampala North, Wesley Nganizi n’eyali omumyuka we Geoffrey Kahebwa, kw’ogatta eyali aduumira Poliisi y’e Wandegeya Moses Nanoka.
Bano baali bavunaana Kayihura ne basajja be okubatulugunya nga bayita mu biragiro bye baawanga abaserikale, bwe baali bagumbulula olukuhhaana lwa Dr. Besigye. Kkooti y’e Makindye yakkiriza okuwulira omusango guno, era n’eyita abaserikale bano bavunaanibwe.
Wabula ku lunaku lwe baalina okulabikako mu kkooti, ekibinja kya Bodaboda 2010 nga kiduumirwa Abdallah Kitatta kyazingako kkooti ne beekalakaasa nga bawakanya eky’okuvunaana Kayihura.
Ne munnamateeka Robert Rutaro yaggulawo omusango mu kkooti etaputa ssemateeka, ng’awakanya eky’okuvunaana Kayihura ne banne, kubanga bye baakola tebaabikola ku lwabwe ng’abantu, wabula baabikola nga abakozi ba gavumenti. Rutaro era yali agamba nti abaggula ku Kayihura emisango baasinziira mu tteeka erirwanyisa okutulugunya erya Prevention and Prohibition Torture Act 2012, kyokka nga ebimu ku bye bavunaana
Kayihura bya 2011, nga byaliwo ng’etteeka lino terinnabaawo.
Abalamuzi abataano mu nsala yaabwe baagambye nti okuvunaanibwa ku misango nga gino kulina kukolebwa kw’oyo omuntu yennyini abeera yagizza, nga mu mbeera eno abawagiz ba Besigye tebaalina tteeka lye baamenya bwe baavunaana Kayihura ng’omuntu era mu Ssemateeka temuliimu kawaayiro kakuuma bapoliisi nti tebajja kuvunaanibwanga nga bazzizza omusango.
Baagasseeko nti emisango egyali gyaggulwa ku Kayihura giraga nti yagizza 2016, ate etteeka erirwanyisa okutulugunya ne litandika okukola mu 2012 ekitegeeza nti yavunaanibwa mu mateeka. Oluvannyuma lw’ensala
eno, kati abantu abalumirizanti baatulugunyizibwa mu kiseera kya Kayihura baddembe
okumuggulako emisango ng’omuntu. Era egimu ku misango egimwolekedde, mwe muli;
l Ogwa Daniel Mayombwe n’abasomesa ba Winterland Primary School okuli Jamil Kiragga ne Evarist Kalungi, abaawawaabira Kayihura n’eyali akulira ekibiina kya Bodaboda 2010 Abdallah Kitatta mu 2017, nga bagamba nti ekibinja kya Kitatta kyabakuba wamu n’abayizi baabwe, bwe baali bagenda okuyimba ku mukolo gwa poliisi e Ntebe.
Akabinja ka Bodaboda 2010 kaazingako bbaasi omwali abayizi mu bitundu by’e Busega
ne babakuba nga babateebereza okubeera abawagizi ba NUP kubanga abayizi baali bambadde amasaati aga langi y’eggwanga ate nga beesibye obuwero obumyufu ku mikono.
l Mu 2016, Ronald Muhereza ne Michael Nyesiga baagenda mu kkooti nga baagala omulamuzi alagire Kayihura abaliyirire ssente obukadde 50, buli omu lwa kubatulugunya. Kayihura baamuvunaana n’eyali omuyambi we Jonathan Baroza ne James Ruhweza owa Kampala Metropolitan, Andrew Kaggwa owa Kampala South ne Samuel Bamuzibire, Aaron Baguma, Geoffrey Kahebwa ne Daniel Tandema.
l Waliwo abantu abaali beegeza edda mu Kayihura okumuwawaabira nga balumiriza Poliisi okubatulugunya, ensala ya kkooti ebongedde amaanyi. Muno mulimu Abasiraamu abakulemberwa Sheikh Muhammad Yunusu Kamoga abaali bavunaanibwa emisango gy’okutta abakulembeze b’Obusiraamu. Wadde emisango gino gyabaggyibwako, naye balumiriza nti bwe baabeerera mu kkomera, baatulugunyizibwa nnyo, ekintu ekyabamalako eddembe lyabwe. Bano kuliko Sheikh Muhammad
Yunus Kamoga, Sheikh Siraje Kawooya, Abdulhamid Sematimba, Rashid Jingo, Twaha Ssekito, Yusuf Kakande ne Sheikh Murta Mudde Bukenya. l Eyali mmeeya w’e Kamwenge Godfrey Byamukama y’omu ku bantu abaatulugunyizibwa mu kiseera Kayihura we yabeerera omuduumizi wa Poliisi. Ono yakwatibwa poliisi ng’ateeberezebwa okubeera n’akakwate ku kuttibwa kwa Andrew Felix Kaweesi, kyokka mu nnaku ntono ng’akwatiddwa, ebifaananyi bye byasaasaanira, omutimbagano nga biraga ebiwundu ebinene ku mubiri gwe ebigambibwa nti byava ku kutulugunyizibwa.
l Abantu abalala abalumiriza okubatulugunya mu kiseera Kayihura we yabeerera omuduumizi wa Poliisi nga kati era bakyanoonya bwenkanya, baatandikawo ekitabo kye baatuuma “SPEAK UP AGAINST TORTURE”, nga muno mwe bawandiika abantu abaatulugunyizibwa Poliisi mu kiseera kya Kayihura ate nga beetegefu okuwa obujulizi. Muno mulimu Edrisa Mutebi, omutuuze w’e Kazo alumiriza nti yatulugunyizibwa abaserikale mu September wa 2017, oluvannyuma lw’okukwatibwa ne banne nga balaga obutali bumativu ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Mu budduukulu gye baabasibira, omuli aka Poliisi ya Jinja Road ne Naggalama, Mutebi agamba nti baakubwa nnyo era ye ekitundu kye ekya wansi okuva mu kiwato kyafa. l Omulala ye Charles Mutaasa Kafeero, agamba nti yayokebwa ppaasi ku lubuto nga bamugamba akkirize nti ye ne banne baalina emmundu ze baali baagala okweyambisa
okuvuunika gavumenti. Ono agamba nti yakwatibwa emirundi ebiri mu 2015 ne 2016 oluvannyuma lw’akalulu ka bonna. Alumiriza nti baamufuuyira kaamulali mu maaso ng’ali e Nalufenya ne bamwokya ne ppaasi ku lubuto