Amawulire

Embeera y'obutamanya muwendo gw'abakadde ezingamizza enkulaakulana yaabwe

KOMISONA avunanyizibwa ku bakadde mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Patrick Menya yennyamidde olw’omuwendo gw’abakadde obutabamanyikibwa ekireetedde abamu obutafuna mpeereza za Gavumenti. 

David Mukiibi ssentebe w'abakadde e Wakiso ng'alayira
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

KOMISONA avunanyizibwa ku bakadde mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Patrick Menya yennyamidde olw’omuwendo gw’abakadde obutabamanyikibwa ekireetedde abamu obutafuna mpeereza za Gavumenti.

Menya yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti nye Wakiso, ku mukolo gw’okulayira eri olukiiko lw’abakadde ssaako olw’abaliko obulemu, n'agamba nti Gavumenti ekalubiriziddwa okumanya omuwendo omutuufu ogw’abakadde ekimu ku bizingamizza  enkulakulana yaabwe.

Omu ku bakulembeze b'abaliko obulemu ng'alayira

Omu ku bakulembeze b'abaliko obulemu ng'alayira

“Tufunye okusomoozebwa naddala mu Wakiso, tugezaako okunoonya abakadde, naye tetusobodde kubafuna bonna gyebali kumanya nnamba yaabwe ekintu oluusi ekiva ku biwandiiko byabwe obutakwatagana, nabamu okuba nga tebamanyikiddwa gye babeera.” Menya bweyayongeddeko.

Menya era yennyamidde olw’abamu ku bakadde abatwaliddwako ettaka lyabwe kyokka nga tewali abalwanirira, n'asaba olukiiko olupya olwalondeddwa lutandikire ku nsonga eno kuba nti abamu ku bakadde basuzibwa busuzibwa olw’okuba amayumba gaabwe nebirime byayononebwa.

Yalambuludde obuvunanyizibwa enkiiko ezaalondeddwa okufuba ennyo okwetegereza baani abalina okufuna obuyambi bw’abakadde ssaako abaliko obulemu, kuba bakizudde nga bangi baberimbikamu olwo ate abalina okuganyulwa nebasigala ebbali.

Abamu ku bakadde nga bava mu lukiiko

Abamu ku bakadde nga bava mu lukiiko

Ye ssentebe w’abakadde mu disitulikiti ye Wakiso, David Mukiibi Byekwaso, yasabye Gavumenti etekewo amalwaliro g’abakadde nga bweyakola ku bakyala n’abaana kibanguyize okufuna empereza mubudde.

Mukiibi yagambye nti bafuna okusomoozebwa mu malwaliro ga bonna olw’okusimba ennyiriri ate nga nebwebasangawo abavubuka, tebabakwatirwa kukisa kubareka bayitewo bagende balabe abasawo.

Yayongeddeko nti balina okusomoozebwa okulala okw’abakozi ba Gavumenti abekiika mu ssente zaabwe ssaako obuyambi obulala obuwebwa Gavumenti, nga mukino nti babatekako obukwakkulizo bungi n’ekigendererwa eky’okuwa enguzi babawe bye baagala.

Abamu ku bakadde nga bava mu lukiiko

Abamu ku bakadde nga bava mu lukiiko

Deboarh Mazzi nga ye muwandiisi ku lukiiko lw’abaliko obulemu olwa Wakiso, yagambye nti obuyambi Gavumenti bwebawa busaana kwongerwako kuba omuwendo gwabwe munene nnyo mu disitulikiti.

Abalala okwaabadde Muwanga Lutaaya omuyambi wa RDC wa Wakiso ssaako Edward Sentalo amyuka ssentebe wa disituliiti, baassabye abakadde n’abaliko obulemu okugoberera pulogulamu za Gavumenti ssaako okuloopa abo abazibulankanya

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: