Ekirwadde kya kkansa kyongedde okweriisa enkuuli mu Bannayuganda.
Alipoota eyaakafuluma eraga nti omuwendo gw’abafuna kkansa gulinnye ne gutuuka ku bitundu 25% mu bbanga lya mwaka gumu.
Mu mwaka guno gwokka, Uganda Cancer Institute (UCI) esangibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago yaakafuna abalwadde ba kkansa abapya 10,480. Omwaka oguwedde baafuna abalwadde 8,372.

Abakungu nga bali mukutongza kaweefube
Ensonga eyo n’endala zaaviiriddeko ekitongole kya Centre for Agriculture and Biosciences International (CABI) nga kiri wamu ne minisitule y’ebyobulimi n’obulunzi (Ministry of Agriculture, Animal Industry and Fisheries (MAAIF), okutongoza kaweefube mwe bagenda okuyita okulwanyisa okukozesa eddagala ly’obutwa mu balimi n’abasuubuzi.
Kaweefube atuumiddwa; Yoza bulungi, Olye bulungi obeere n’obulamu obulungi.
Yatongozeddwa nga November 4, 2026, ku Hotel Africana nga bagenda kusomesa ab’omu butale engeri eddagala ery’obutwa gye likosa abantu, bizinensi n’obutonde.
Era baakubasomesa engeri gye balina okwoza ennyaanya ne ziggwaako obutwa.
John Mwanja, amyuka kamisona w’ebyeddagala ly’ebisolo n’ebimera ku MAAIF agamba nti yadde ng’eddagala litaasa ebimera ku buwuka, kyokka ekika n’enkwata yalyo kikulu nnyo. Agamba eddagala erimu abakugu balaga nti livaako endwadde nga kkansa n’ezolususu. Era waliwo n’eryonoona obutonde n’okutta ebiwuka ng’enjuki nga zino zaamugaso nnyo eri omulimi.
Dr Henry Kaula okuva mu kitongole ky’ebyobulamu ku KCCA agamba nti okunoonyereza kulaga nti abantu bangi mu nsi yonna balwala endwadde ziva ku kulya emmere efuuyiddwa eddagala ly’obutwa.
Ye Christine Alokit, okuva mu CABI, agamba nti essira era bagenda kuliteeka ku batunda n’ebirime ebirala kubanga bangi balowooza nti eddagala eryo liyamba ebirime obutayonooneka naddala nga biri ku katale.