Omusajja agambibwa okufumita muganzi we ekiso ekyamutta wali mu Kibira Cell A e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala mu Ssabagabo Makindye e Wakiso, poliisi emukutte.
Ettemu lino, lyaliwo nga October 20,2026, omusajja ono Musa Maguma amanyiddwa nga Awali 38 agambibwa nti yafumita Shawula Nabona 30, ekiso mu lubuto n'akirekamu n'adduka , bwe baali bafunye obutakkaanya.
Bano bombi kigambibwa nti baali baagalana ne bafunamu obutakkaanya emyezi nga etaano emabega era nga y'emu ku nsonga agambibwa okuvaako ettemu n'afiira mu ddwaaliro e Mulago n'amulesa abaana basatu.
Awali omutuuze w’e Igombe cell e Bulangu mu ggombolola y'e Bulangu e Bugweri kyokka nga bamukwatidde ku mwalo e Dolwe e Namayingo ng'omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, bw'annyonnyola.